TOP

Bagaanye omugagga okuggulawo ebyuma

By Saul Wokulira

Added 12th June 2019

ABATUUZE mu kabuga k'e Kangulumira batabukidde omugagga eyazimbye ebyuma bibiri wakati mu mayumba gaabwe.

Kafeeroayogeraeriabatuuzekayunga 703x422

Kafeero ng'ayogera eri abatuuze ku kisaliddwawo ku byuma ebizimbiddwa e Kangulumira

ABATUUZE batabukidde omugagga eyazimbye ebyuma bibiri wakati mu mayumba gaabwe.

      Vicent Ouma ye yazimbye ebyuma okuli ekisunsula omuceere n'ekikuba obuwunga. 

     Baabimugobezza era ne beerayirira obutamukkiriza kubiggulawo kubanga bijja kuleeta enjatika mu mayumba gaabwe n'obuwunga okubafumuukira. 

      Baasoose kutuula mu lukiiko ne  Collins Kafeero avunaanyizibwa ku mbeera z'abantu ku disitulikiti e Kayunga eyazze n'abalungamya amateeka abalala abatuuze ne babalaga obulumi bwe balimu.

    Ebyuma yabizimba mu zooni ya Kibira mu tawuni y'e Kangulumira mu disitulikiti y'e Kayunga.

    Kafeero yayimirizza ebyuma bino obutaggulawo kubanga biri wakati mu mayumba g'abatuuze. 

    Agambye nti ebizimbe asobola okubikoleramu bizinensi endala naye ebyuma babigaanye. 

     Omugagga Ouma olukiiko yalwebalamye era n'abaamukiikiridde baagaanye okwogera ku nsonga zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze