TOP

Kansala Nsajja avunaanibwa bufere

By Saul Wokulira

Added 12th June 2019

Kansala Nsajja Musonge Fred akiikirira eggombolola y'e Nama ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono yakwatiddwa lwa kufera omusomesa n'amulyako ssente obukadde 62.

Kansalansajjangabimusobeddekukootiekayunga 703x422

kansala Nsajja eyafeze omusomesa

KANSALA amaaso gamumyuse bw'akwatiddwa mu uisango gw'obufere.

    Kansala Nsajja Musonge Fred akiikirira eggombolola y'e Nama ku lukiiko lwa disitulikiti y'e  Mukono yakwatiddwa lwa kufera omusomesa n'amulyako ssente obukadde 62.

    Nsajja yalya obukadde 62  okuva ku Isanga Emmanuel nnannyini ssomero lya Greenvine College e Kayunga.

sanga omusomesa gwe baaferaIsanga omusomesa gwe baafera

 

    Kansala Nsajja yefuula omusuubuzi wa mmotoka n'adyekadyeka Isanga nti  ajja kumuguza emmotoka kika kya Prado TX kyokka n'atagimuwa kati emyaka esatu egiyise.

    Kansala Nsajja atwaliddwa mu kkooti y'omulamuzi w'eddaala erisook,a Wilson Wandera avunaanibwa omusango gw'okufuna ssente mu lukujjukujju era n'asindikibwa ku limanda mu kkomera e Ntenjeru okumala wiiki emu.

      Kansala Nsajja yegayiridde Isanga ne looya we Waiswa wabula ne bamulagira akole kimu kya kusasula ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba