TOP

Akatabo k'omugagga Ham kateereddwa ku sirabaasi

By Joseph Mutebi

Added 12th June 2019

Akatabo k'omugagga Ham kateereddwa ku sirabaasi

Haj6 703x422

Ham ng'ali n'abakungu ba National Curriculum Development Cantre mu office ye olwaleero

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa okuteekateeka n’okukakasa ebisomesebwa mu masomero n’amatendekero aga waggulu mu ggwanga kitongozza akatabo akaawandiikibwa omugagga Hajji Hamis Kigundu okusomebwa abayizi bali mu bibiina wakati wa S1 ne S6.

 ajji amis iggundu ngannyonnyola obuwanguzi bwatuuseeko oluvannyuma lwokussa ekitabo kye ku sirabaasi Hajji Hamis Kiggundu ng'annyonnyola obuwanguzi bw'atuuseeko oluvannyuma lw'okussa ekitabo kye ku sirabaasi

Akatabo kano akayitibwa “Success And Failure Based On Reason And Reality” kaakakasiddwa aba National Curriculum Development Centre (NCDC) oluvannyuma lw’okutwala ebbanga nga bakeekenneenya n’okukayisa mu mitendera egy’ebitabo ebisomesebwamu abayizi. “Twakasomye ne tukeetegereza nga tukayisa mu mitendera ekitabo ekigenda ku siribaasi mwe kirina okuyita era kalimu bingi omuntu wa bulijjo naddala abaana abakyali abato bye balina okumanya,” dayirekita wa NCDC, Grace Mukama bwe yategeezezza.

Mukama yabyogedde akwasa Hajji Kiggundu, satifikeeti akakiiko gye kaamuwadde nga kakakasa akatabo ke mu bitabo ebikkirizibwa mu bisomesebwa abayizi mu Uganda.

“Abantu bangi abagagga nga Kiggundu abalina ebyokubayigirako naye nga tebasobola kuwandiika bintu bibakwatako n’amagezi ag’enjawulo agandiganyudde eggwanga naye Kiggundu wa njawulo.

Mugagga muto ate muyivu alina n’ekitone ekitasangika era ng’eggwanga tumwenyumirizaamu era agende mu maaso,” Mukama bwe yategeezezza. Yayongeddeko nti akatabo kano kagendakusomesebwa naddala essomo eriyigiriza okwetandikirawo bizinensi, enkozesa y’olulimi Olungereza n’ebirala kubanga kalimu bingi ebikwata ku ngeri omuntu gy’agaggawalamu.

Avunaanyizibwa ku bissibwa mu bisomesebwa mu NCDC, Angela Kyagaba yagambye nti akatabo kano engeri gye kaawandikiddwa omuntu omuyivu ate omugagga, abayizi bagenda ku kafunamu nnyo kubanga ky'awandiiseeko kyekyo ky'ali. “Ffe nga NCDC tulina bitono bye tugenda okumuyamba okwongera okuterezaamu era n’amawanga agatwettolodde gaatandise dda okukatusaba bakateeke ku siribaasi zaabwe,” bwatyo Kyagaba bwe yategeezezza.

Kiggundu yagambye nti akatabo kano yakawandiika ng’ayagala okusomesa omuntu yenna engeri gy'asobola okugaggawalamu ng’amulaga nti alina kusooka kutandika n’ekitono ky'alina kubanga omuntu bw'agaana okutegeera nti mwavu n'alaba bwakozesa ky'alina tasobola kuva mu mbeera eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono