TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mbabazi eyali muninkini wa Kaweesi bamwongedde obukuumi

Mbabazi eyali muninkini wa Kaweesi bamwongedde obukuumi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2019

EYALI muninkini w’omugenzi Andrew Felix Kaweesi, Christine Mbabazi Umuhooza bamwongedde obukuumi oluvannyuma lw’omu ku bakuumi be okukubwa essasi ng’amuwerekedde mu ddwaaliro ku Lwomukaaga oluwedde.

Mbabazi1 703x422

Mbabazi

Bya BASASI BAFFE
 
EYALI muninkini w’omugenzi Andrew Felix Kaweesi, Christine Mbabazi Umuhooza bamwongedde obukuumi oluvannyuma lw’omu ku bakuumi be okukubwa essasi ng’amuwerekedde mu ddwaaliro ku Lwomukaaga oluwedde.
 
Albert Hakiri, omujaasi w’eggye erikuuma pulezidenti erya SFC, y’omu ku bakuumi ba Mbabazi baabadde alina.
 
Ku Lwomukaaga, ye ne banne, Mbabazi yabasabye okumutwala mu ddwaaliro lya Agali Medical Center e Mutundwe bulijjo gye bamujjanjabira kyokka ebintu ne bitatambula bulungi.
 
Hakiri, yasigadde mu mmotoka banne ababiri, ne bawerekera Mbabazi munda mu ddwaaliro.
 
Obutatiisa batuuze, mmotoka baasazeewo okugivuga ne bagisimba emabaga w’ekimu ku bizimbe ebiriraanye eddwaaliro.
 
Abakuumi bonna, baabadde basazeewo okwambala engoye eza bulijjo obutateekawo mbeera etiisa batuuze era n'emmundu ne bazireka mu mmotoka.
 
Hakiri, ekyasi baakimukubye mu kugulu okwa kkono.
 
Yasoose kutwalibwa ku ddwaaliro lya Agali Medical Center Mbabazi we yabadde oluvannyuma ne bamwongerayo ku Victoria Hospital gyali ku ssaawa eno.
 
Okusinziira ku baalabye ng’emmotoka esimba emmanju, Hakiri yabadde atudde mu mutto gwa ddereeva ng’alinze banne baawerekedde Mbabazi bamuzze awaka.
 
Mmotoka baabadde bagisimbye mmanju w’ekizimbe ekiriraanye eddwaaliro e Mutundwe.
 
Ebyakazuulwa abeebyokwerinda biraga nti, aba LDU abaamukubye ekyasi baafulumye ku mukono gwe ogwa kkono, tebaamubandaazizza kubaako by'annyonnyola ekyasi ne kimulya.
 
Eyaduumidde okukuba Hakiri essasi, mukulu mu ba LDU era y’omu ku baduumira ebikwekweto bya LDU mu Munisipaali y’e Lubaga.

 

 
Olwamaze okukuba Hakiri, kigambibwa nti, baayingidde mu ddwaaliro nga babuuza omukazi eyabadde atwaliddwa munda gye yabadde kyokka abasawo nga bakolaganira wamu n’abakuumi ba Mbabazi.
 
Bino olwatuuseewo, kigambibwa nti, Pulezidenti Museveni yalagidde Mbabazi bamwongere obukuumi kubanga obulamu bwe bwandiba nga buli mu matigga.
 
Omukazi ono, azze abeerako okugugulana wakati w’ebitongole by'ebyokwerinda. Mu October wa 2017, kaabula kata poliisi ekubagane amasasi n’abajaasi b’ekitongole kya Internal Security Organization (ISO) abaali bakuuma Mbabazi.
 
ISO, yasibira Mbabazi mu maka ge e Lungujja nga kigambibwa nti, yalina kye yali amanyi ku kutemulwa kwa Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga eyattibwa nga March 17, 2017 e Kulambiro bwe yali ava mu maka ge okugenda ku mirimu emitongole ku yunivasite ya UCU e Mukono.
 
Mbabazi, yakubira poliisi ng’agamba nti, waliwo abasajja abaali bamuwambidde mu maka ge. Poliisi ng’eduumirwa eyali akulira Flying Squad Herbert Muhangi, yazingako amaka na buli kafo akeetooloddewo.
 
Abajaasi ba ISO, baagateeka mu ccemba ne poliisi ebweru, Muhangi yagiragira eggyeko obubaati bwe kuba kufa, kubeerewo.
 
Pulezidenti bino olwamugwa mu matu, yasindika abamu ku basajja be abamukuuma ne baggyawo aba ISO ne poliisi ne bagiragira okuzingako ebyayo era emyaka kati gibadde ginaatera kuwera ebiri nga Mbabazi akuumibwa ba SFC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba