TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutabani wa Dr. Kayiira ayogedde ebikambwe ku mudaali

Mutabani wa Dr. Kayiira ayogedde ebikambwe ku mudaali

By Hannington Nkalubo

Added 13th June 2019

DAVID Kayiira 34, Mutabani wa Dr. Andrew Lutakome Kayiira agambye nti yejjusa ekyamututte ku mikolo gy’Abazira kubanga abategesi baatyobodde n’okulengezza emirimu kitaabwe gye yakola mu lutalo olwanunula Uganda.

Kayiira2 703x422

David Kayiira ne Museveni ku Lunaku lw'abazira.

BYA HANNINGTON NKALUBO
 
DAVID Kayiira 34, Mutabani wa Dr. Andrew Lutakome Kayiira agambye nti yejjusa ekyamututte ku mikolo gy’Abazira kubanga abategesi baatyobodde n’okulengezza emirimu kitaabwe gye yakola mu lutalo olwanunula Uganda.
 
Nga yenna ayogeza busungu yalaze nti omudaali ogwabaweereddwa gugwa mu kiti kya midaali egyo egizze giweebwa abantu abawaddeyo emmere nga muwogo oba lumonde n’okukweka abalwanyi egya 'Luweero Triangle' .
 
Yagambye nti kitaabwe yali mulwanyi nnamige era bye yakola Pulezidenti Museveni abimanyi bulungi nga mulwanyi munne.
 
Yanokoddeyo nti kitaabwe yali ku ddaala lya njawulo eryalimu abalwanyi ab’omutawaana era abaayigga abawaayo ebyokulwanyisa era byeyakola bw'obiyisaamu amaaso n’omussa ku ddaala ly'abawaddeyo muwogo oba omutyobodde nnyo.
 
David Kayiira ye mutabani w’omugenzi Andrew Lutakome Kayiira asembayo.
Ye yakwasiddwa omudaali gwa kitaabwe ku Ssande okumwebaza emirimu emirungi gye yakola mu lutalo.
 
Ono ye yasigalawo mu ggwanga ng’abaana abalala mukaaga baagenda mu America gye babeera olw’okutya embeera y’ebyobufuzi eyaliwo mu ggwanga.
 
Yakwasiddwa omudaali gwa 'Luweero Triangle' era n’afunawo akaseera n’ayogeramu ne Pulezidenti Museveni.
 
Eggulo yatuukiriddwa omusasi ono ku ssimu n’ategeeza nti wadde omudaali gwetaagisa naye abaategese baalibadde basooka ne batunuulira omulimu gw’omuntu gwe bagenda okuwa omudaali ogwo oba ddala gutuukagana n’omulimu gwe yakola mu lutalo.
 
“Omudaali ogwatuweereddwa gwabadde gulaga obunyoomi , okutyoboola n’okulengezza omugenzi.
 
Wadde taata yafa naye ate tosobola kumutyoboola kutuuka ku ddaala eryo’Mutabani w’omugenzi bwe yategeezezza.
 
Yagambye nti famire yaabwe si nsanyufu ku ngeri Gavumenti gye gitwalamu.
 
Yagasseeko nti mu bbanga lya myaka 33 Gavumenti gyemaze mu buyinza tewali lunaku wadde essaawa emu Pulezidenti Museveni gye yali akkirizza okubasisinkana.
 
Yasabye gavumenti ebeeko kyekolera famire. Yategeezezza nti ye muto ku baana ba Kayiira abalala .
 
Omugenzi okuttibwa yalina emyaka ebiri ng’ali ne maama we Ruth Nankanja era amukuzizza mu mbeera y’obugubi n’obulumi obwekitalo nga tewali amukwatirako era baganda be abalala baasalawo okufuluma eggwanga .
 
Yajjukizza nti famire n’okutuusa kati tefunanga lipoota ku nfa eya kitaabwe era oluvannyuma lwa lipoota entuufu, gavumenti esaana erage okusiima emirimu kitaabwe gye yakolera eggwanga.
 
Yagambye nti ebigendererwa bya Kayiira, Pulezidenti Museveni abimanyi bulungi kwali kuzza nfuga entambulira ku mateeka ne Demokulase .
 
Ku Lwokubiri , DP yasabye Pulezidenti Museveni wadde yawadde famire omudaali naye eggwanga kye lyetaaga lipooti ekwata ku batemu abatta Kayiira.
 
Mao yagambye nti bwe giba midaali Kayiira asaana mudaali gwa njawulo egitali gino egiweebwa buli muntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze