TOP

Lwaki Museveni akyusizza akulira abamukuuma

By Kizito Musoke

Added 13th June 2019

MAJ. Gen. James Birungi Mugabe asikidde Maj. Gen. Don Nabasa okuduumira eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC.

Birungi3 703x422

Birungi

Bya KIZITO MUSOKE NE BENJAMIN SSEBAGGALA
 
MAJ. Gen. James Birungi Mugabe asikidde Maj. Gen. Don Nabasa okuduumira eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC.
 
Musajja mutendeke mu by’ekijaasi era mumalirivu atatya.
 
Bamuggye mu ggye ery’omu bbanga gy’abadde nga y’akulira embeera z’abajaasi. Y’omu ku bajaasi Museveni baasembyeyo okukuza mu February w’omwaka guno.
 
Mu April omwaka guno yakiikiridde Uganda mu Bugirimaani mu mwoleso gw’ebyennyonyi ogwa Innovation and Leadership in Aerospace Expo (ILA Berlin
2018).
 
Yafuna okutendekebwa mu Russia, Amerika ne Yisirayiri. Aludde ng’aweereza amagye era azze mu bigere bya Nabasa eyalondebwa mu January 2017 ng’ekifo akimazeemu
emyaka ebiri n’ekitundu.
 
Mu June 2018 bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okwambaza abajaasi b’eggye ly’omu bbanga ennyota, yeebazizza bakyala baabwe okuwagira abaserikale. Yabakuutira okufuba okukola dduyiro beewale omugejjo n’okufuba okulaba nga bagenda mu ddwaaliro okwekebeza endwadde ez’enjawulo buli kiseera.
 aj en ames irungi  ku kkono ku mukolo ogumu Maj. Gen. James Birungi ( ku kkono) ku mukolo ogumu.

 

 
 
Omwogezi wa SFC Jimmy Omara yakakasizza enkyukakyuka zino n’agamba nti Nabasa asindikiddwa China okwongera okutendekebwa mu by’ekijaasi.
 
Nabasa yadda mu bigere bya Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba mu 2017. Muhoozi ekifo kino yakimalamu emyaka mwenda okuva mu 2008 okutuuka mu 2017.
 
Eggye erikuuma pulezidenti livunaanyizibwa ku byokwerinda bye n’abakungu abalala mu ggwanga nga bwe kibeera kisaliddwaawo.
 
LWAKI MUSEVENI AKYUSIZZA NABASA
Kiteeberezebwa nti mu nsonga eziyinza okuba nga ze ziggyisizzaawo Nabasa mwe muli embeera ebaddewo ng’abaserikale abava mu SFC bazze beenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
 
Mu March 2019 kyawaawadde nnyo ababbi bwe baazingizza emmotoka y’ekitongole kya G4S etambuza ssente ne bazinyaga e Kyambogo ku luguudo lw’e Jinja.
 
Bano ISO yabazingizza n’ebakuba amasasi era mu kavuvuhhano, baakubiddewo Bright
Turyatunga eyasangibwa ne densite eraga nti muserikale wa SFC kyokka Jimmy Omara omwogezi wa SFC yategeeza nti ono yali yatoloka mu ggye lino mu 2012.
 
Mu October 2018 omujaasi wa SFC, RA 205960 Private Michael Musinguzi ng’ali n’abantu baabulijjo baalumba John Bosco Wamala mu Kisenyi mu Kampala ne bamutta ne batwala ssente. Baasimbibwa mu kkooti ne babasindika e Luzira.
 
Ku ntandikwa y’omwezi guno kyategeezeddwa nti waabaddewo abajaasi abaabadde bazinze Hotel ya Fang Fang mu Kampala okunyaga ne babakwata era nga nakwo kyategeezeddwa nti kwabaddeko owa SFC kyokka bino baabisambazze.
 
EBIKWATA KU SFC
Eggye eryenjawulo erikuuma Pulezidenti lyatandikira mu nsiko mu May wa 1981 bwe waatondebwawo ekibinja kya High Command Unit (HCU) e Kyererezi - Kapeeka awayitibwa Nakaseke mu kiseera kino.
 
Obuvunaanyizibwa bwa HCU bwali bwa kukuuma omuduumizi omukulu, Yoweri Kaguta
Museveni, okulaba nga tatuusibwako buzibu bwonna.
 
Robert Kabuura ye yasooka okubeera omuduumizi n’oluvannyuma n’asikirwa
Akanga Byaruhanga nga bakyali mu nsiko.
 
Oluvannyuma lw’abayeekera ba NRA okuwamba obuyinza mu 1986, HCU yakyusibwa erinnya n’etuumibwa Presidential Protection Unit (PPU) nga kirimu abajaasi abali wakati wa 700-800 era nga Lt. Col. Akanga ye yasooka okubeera omuduumizi.
 
Mu kiseera abayeekera ba Lord Resisitence Army abaali baduumirwa Joseph Kony we baafungira ekyonga aba PPU baagigaziya ne bagifuula Brigade okusobola okulwanyisa
bakyewaggula n’efuulibwa PGB.
 
Mu 2010, PGB yakyusibwa erinnya ne bagituuma Special Forces Group (SFG).
 
Mu 2012 erinnya era lyaddamu okukyusibwa ne lifuuka Special Forces Command (SFC).
 
ABAZZE BADUUMIRA SFC
  1. Muhoozi Kainerugaba ne
  2. Sabiti Muzeyi
  3. Leopold Kyanda
  4. George Mayeku
  5. Mwine Muzeyi
  6. Robert Kabuura,
  7. Col. Akanga Byaruhanga
  8. Gen. Geoffrey Muheesi
  9. Dick Bugingo
  10. William Bainomugisha
  11. Col. Johnson Namanya
  12. Don Nabasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...