TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamulumirizza okukukusa omuwala n’afiira mu Oman

Bamulumirizza okukukusa omuwala n’afiira mu Oman

By Edward Luyimbazi

Added 13th June 2019

OMUSANGO ogw’okukukusa abantu okubatunda mu mawanga ag’ebweru oguvunaanibwa Hajjati Sarah Nazziwa, gutandise okuwulirwa mu kkooti e Nakawa.

Nazziwa2 703x422

Nazziwa (mu maaso) nga yeekweka kkamera ku kkooti e Nakawa.

Bya EDWARD LUYIMBAAZI
 
OMUSANGO ogw’okukukusa abantu okubatunda mu mawanga ag’ebweru oguvunaanibwa Hajjati Sarah Nazziwa, gutandise okuwulirwa mu kkooti e Nakawa.
 
Abooluganda lwa Kezia Nalwanga eyafiira mu Oman be baawaaba omusango guno.
Dorothy Nakaggwa, maama wa Nalwanga yawadde obujulizi mu maaso g’omulamuzi Ruth Nabasa n’alombojja engeri muwala we gye yafa.
 
Nakaggwa yagambye nti Nazziwa ye yatwala muwala we mu May kyokka aba yaakakolako emyezi 4, bakama be mu maka mwe yali akolera ne bamubinika emirimu mingi ng’ava mu maka mwe yali akolera ate ne bamutwala mu maka amalala era bwatyo ne yeekyawa. Bino yabitegeezanga nnyina buli lwe yamukubiranga ku ssimu.
 
Waliwo eyamuwa amagezi nti singa akola n’aweza emyezi 6 basobola okumukkiriza okuvaayo singa abategeeza nti alina owooluganda lwe afudde era gano amagezi ge yasala. Yamala ennaku ttaano ng’akaaba era n’agamba bakama be nga bwe yali afiiriddwa omwana we.
 
Bakama be baamuzza ku ofiisi gye baamuggya. Wano baamutulugunya ayogere ekituufu era bwe baakizuula nti yali akooye okukola, baamukuba nnyo olwo ne baamuzzaayo ku mulimu.
 
Yagaana okukola era ne bamuzzaayo ku ofiisi gye baamutegeereza nti alina kusooka kusasula obukadde mukaaga ze baamussaamu era nga yali wa kuzisasula mu wiiki bbiri.
 
Nalwanga bino byona yabitegeeza nnyina eyasitukiramu n’agenda ewa Nazziwa wabula teyamuyamba. Nakaggwa yaloopa ku poliisi y’e Nansana abaamusindika ku minisitule y’ensonga z’omunda.
 
Nazziwa yakwatibwa n’asibwa ku poliisi ya Jinja Road wabula n’ayimbulwa oluvannyuma lw’ennaku ttaano nga bakkaanyizza azze Nalwanga. Olwo Nalwanga yali aggyiddwaako ebintu bye byonna nga n’essimu akozesa za banne.
 
Nakaggwa yagambye nti baamutegeeza nti nga April 5,2019, nti mukama wa Nalwanga yamuggyawo ku ofiisi n’amuzzaayo mu maka era nga April 7, 2019 yamutta ng’amusibyemu omuguwa olwo nagenda ku poliisi n’agitegeeza nga Nalwanga bwe yali yesse.
 
Nakaggwa yagambye nti bwe yagenda okubikira Nazziwa nti Nalwanga afudde yasanga adduse ekiraga yali amanyi ekyali kituuseewo. Omusango gwongezeddwaayo okutuusa nga June 17, 2019 era Nazziwa n’azzibwayo ku limanda e Luzira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Skjhtlu3 220x290

Loodi Meeya takyaddamu kukubiriza...

OLUVANNYUMA lw’ennongoosereza ezaakoleddwa mu tteeka erifuga Kampala okulangibwa mu katabo k’eggwanga aka Uganda...

Soma0 220x290

Tulakita ziyiikuula mirambo e Jinja...

TULAKITA zaasiibye ziyiikuula amafunfugu okuggyayo emirambo gy’abaafi iridde mu kizimbe ekyagudde e Jinja.

Katongolengaasunsulaabamukubazimbiabatalinabiwandiikoendoddokammengomumpigi 220x290

Gavumenti etandise okubangula abazimbi...

GAVUMENTI etandise enteekateeka y’okubangula abazimbi abatalina buyigirize esobole okukendeeza ku bbula ly’emirimu...

Grad 220x290

Bannayuganda ababeera e Canada...

BANNAYUGANDA abali e Canada bongedde amaanyi mu kaweefube okwagazisa bannaabwe ebikolebwa e Uganda n’okubategeeza...

03 220x290

Ssekikubo bamukkirizza okweyimirirwa...

OMUBAKA we Lwemiyaga Theodre Ssekikubo azzeemu okuyimbulwa Kkooti e Masaka ku misango gy'okukuma mu bantu omuliro...