TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Owa bodaboda gwe baateeberezza okutta munne bamusse

Owa bodaboda gwe baateeberezza okutta munne bamusse

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2019

ABATUUZE b'e Kapeeka mu disitulikiti y'e Nakaseke naddala abavuzi ba bodaboda bavudde mu mbeera ne batta omuvubuka Vincent Mawanda gwe baateeberezza okubeera omu ku baaluse olukwe olw’okutta owa bodaboda Musisi Serunjogi 30.

Kapeeka2 703x422

Mawanda

Bya JOHN KATENDE
 
ABATUUZE b'e Kapeeka mu disitulikiti y'e Nakaseke naddala abavuzi ba bodaboda bavudde mu mbeera ne batta omuvubuka Vincent Mawanda gwe baateeberezza okubeera omu ku baaluse olukwe olw’okutta owa bodaboda Musisi Serunjogi 30.
 
Musisi yattiddwa abantu abatannategeerekeka ne bamubbako ne pikipiki ye.
Poliisi eyabadde ekulembeddwaamu Bob Echang, abantu baagisinzizza amaanyi, n’eremererwa okubatangira okutta Mawanda.
 
Mawanda okuttibwa yabadde agenze mu maka ga maama wa Serunjogi ayitibwa Kasifa Nalubowa okumukubagiza olw’okufiirwa mutabani we. Kyokka abantu baamwekengedde olw’engeri gye yagenze ku kyoto ekyakumiddwa abakungubazi mu luggya, n'akitakulamu evvu oluvannyuma n'ayagala adduke kyokka ne bamutaayiza ne bamukwata.
 
alt=''

 

Abatuuze abaabadde baswakidde baakunguzza Mawanda nga bwe bamuzza ku kkubo ly’e Kapeeka-Naluvule ne bamusiba emikono, amagulu n'obulago ne batandika okumukuba era we baamuggyiddeko engalo nga mufu.
 
Ssentebe wa Kapeeka Bodaboda Association, Paul Mugabi yategeezezza nti Musisi yattibwa mu kiro eky'Olwomukaaga era omulambo gwe baagugwako enkeera nga gusibiddwa emiguwa amagulu n'emikono era nga gunnyikiddwa mu kidiba okumpi n’ewa nnyina era eno Poliisi gye yagunnyuludde.
 
Brian Jjuuko naye owa bodaboda e Kapeeka yagambye nti, “poliisi bwe tugiroopera n'etafaayo kireetera abantu okutwalira amateeka mu ngalo.”
 
ABA BODA ABAZZE BATTIBWA E NAKASEKE
 • John Agiku 27, ow’e Kyampisi yali avugira Kapeeka pikipiki nnamba UEM 526M yafa nga October 8, 2018. Ababbi pikipiki baagikima mu nnyumba ne baleka nga bamutemyetemye.

 

 • Samson Nteze Muzeeyi 18, ow’e Ssemuto, owa pikipiki nnamba UET 930J 
  yattibwa nga October 13, 2018 ono yakubwa masasi ababbi pikipiki ye na bagitwala.
   
   
 • Robert Bogere (kkano) 38, ow’e Semuto nannyini pikipiki nnamba UEO 415S yattibwa October 22, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal

Coutinho111 220x290

Coutinho bamwagalizza mikisa

Coutinho yeegasse ku Bayern ku bbanja okuva mu Barcelona

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...