TOP

Bajeti y’eggwanga esomebwa leero

By Kizito Musoke

Added 13th June 2019

OLWALEERO Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija, lw’asoma bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2019/2020 ey’obuwumbi obu­sukka mu 40,4

Budget1 703x422

Minisita Matia Kasaija lwe yasoma bajeti omwaa oguwedde.

 Bya KIZITO MUSOKE

OLWALEERO Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija, lw’asoma bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2019/2020 ey’obuwumbi obu­sukka mu 40,480.

Bajeti egenda okusomebwa yayisibwa dda Palamenti nga May 24, 2019 era nga buli ekirimu kyakkaanyizibwako dda. Ekigenda okukolebwa kwe kwanjulira eggwanga ebintu ebisuubirwa okussibwa mu nkola okutandika nga July 1, 2019.

Palamenti yayisa bajeti eno ey’obuwumbi 40,480, ng’ebitundu 75 ku buli 100 zisuubirwa kuva mu misolo egikuhhaanyizibwa mu ggwanga ate ebitundu 25 ku 100 zive mu bagabi b’obuyambi n’okwewola mu mawanga ebweru.

Minisita Kasaija yagambye nti, leero agenda kutangaaza eggwanga ku nkola ya Islamic Banking egenda okussibwa mu nkola esobozesa abantu okwewola ssente omutali magoba.

“Abo bonna ababadde bawakanya enkola eno, hhenda kubalaga obwetaavu bwayo kuba okusinziira ku ngeri bbanka z’ebyobusuubuzi gye zisabamu amagoba amangi, enkola ya Islamic Banking bwe buddukiro” Kasija bweyagambye.

Minisitule y’ebyenguudo ye yatutte omutemwa ogusinga obunene nga yaweereddwa obuwumbi 6,400 nga bye bitundu 16 ku 100 ebya bajeti.

Ebyokwerinda biweered­dwa obuwumbi 3,610 nga by’ebitundu 9 ku 100 era nga ye minisitule eyakutte ekyokubiri.

Minisitule y’ebyenjigiriza eri mu kyakusatu n’ obuwumbi 3,280. Ebyamasannyalaze n’ebyobugagga by’omu ttaka byafunye obuwumbi 2,950. Ebyobulamu byafunye obuwumbi 2,500 ate ebyobu­limi ne biyiikamu obuwumbi 1,400. Ku luno zaalinnye okuva ku buwumbi 892 ze byafuna omwaka oguwedde.

Gavumenti z’ebitundu zaafunye obuwumbi 1,262. Ebyobulambuzi byaweered­dwa obuwumbi 157, ebyobusuubuzi n’amakolero obuwumbi 171. Minisitule y’ebyettaka obuwumbi 193, ebyamazzi n’obutonde bw’ensi obuwumbi 1,042.

Minisitule y’ebyatekinologiya n’okuluhhamya eggwanga bye byasinze okufuna ssente entono nga ziwera obuwumbi 123.

Kyokka waliwo ababaka abaawakanya Bajeti eno nga baakulemberwamu Muham­mad Muwanga Kivumbi (Bu­tambala) nga beemulugunya nti, Gavumenti yali esussizza okwewola ssente.

Baasemba eddwaaliro ly’e Mulago liweebwe obuwumbi busatu n’ekitundu zeeyamb­isibwa okutumbula embeera y’ekifo awatuukira abalwadde abali mu mbeera embi.

Obuwumbi obuwera 109,206 baali baa­gala ziteekebwe mu nsawo y’okukulaakulanya abavubuka eya Youth Liveli­hood Programme kisobole okuyamba okumalawo ebbula ly’emirimu.

Enkola y’okulinnyisa emisaala gy’abakozi ba Ga­vumenti baasaba kikolebwe lumu nga tebaawuddeemu

 bakozi bamu. Ssente bwe ziba teziriiwo, baawabula Gavumenti okugira nga yeeso­nyiwa eby’okulinnyisa emisaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...