TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ne LDU bakukunudde abavubuka n’abaana 14 mu mwala gwa Nakivubo

Poliisi ne LDU bakukunudde abavubuka n’abaana 14 mu mwala gwa Nakivubo

By Eria Luyimbazi

Added 13th June 2019

POLIISI ya CPS n’aba LDU ekoze ekikwekweto mu mwala gw’e Nakivubo mw’ekwatidde abavubuka n’abaana abeekwekayo 14 nga bateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Mwala 703x422

Abamu ku bavubuka n’abaana abaakwatiddwa okuva mu mwala.

Bya ERIA LUYIMBAZI
POLIISI ya CPS n’aba LDU ekoze ekikwekweto mu mwala gw’e Nakivubo mw’ekwatidde abavubuka n’abaana abeekwekayo 14 nga bateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
 
Kino kiddiridde poliisi okufuna amawulire nga bwe waliwo abavubuka abagumba mu mwala guno okumpi ddala n’omulyango oguyingira mu katale ka St. Balikuddembe ne bakommonta enjaga n’okuteegerawo abantu ne babasala ensawo.
 
Amyuka owogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, poliisi eyakulembeddwaamu akulira poliisi y’e Nakivubo, Caleb Asiimwe n’aba LDU, baayingidde omwala gw’e Nakivubo ne bakwata abavubuka 16 okuli n’abaana abatannaweza myaka 13 nga bonna kiteeberezebwa nti babadde beenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
 
Yagambye nti abavubuka bano olutindo oluyingira mu katale ka St. Balikuddembe okuliraana essomero lya Nakivubo Settlement babadde baatuumawo ku ‘Bamuda’ okulaga nti tewazannyirwawo ate ng’abalala baddukira mu mufulejje gwe baatuuma ‘Nile’ nga guno guyita wansi w’ebizimbe by’akatale wabula abaserikale baasobodde okubakukunulayo.
 
Yategeezezza nti amawulire poliisi ge yafunye nti, mu katundu abavubuka we baabakwatidde batusizaawo enjaga okugisuubuza n’okuginywa era nga be baakutte
bagenda kubayamba okubatuusa ku baginywa n’abagireeta.
 
Yagambye nti abavubuka abaakwatiddwa baatwaliddwa ku poliisi ya CPS ne babasunsulamu ne basigaza abo abakulu okwongera okubanoonyerezaako.
 
Yagasseeko nti okuva aba LDU lwe baakwatagana ne poliisi wabaddewo ebikwekweto mwe bakwatidde abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka abawera era nga mu bitundu ebimu obumenyi bw’amateeka bukendedde ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono