TOP

Ssaalongo ne Nnaalongo bakaayanira ttaka

By Vivien Nakitende

Added 14th June 2019

SSAALONGO ne Nnaalongo balidde matereke nga buli omu alumiriza munne okubba ettaka lye bakaayanira e Kabowa.

Kabowa 703x422

Nnaalongo Nakirijja ne Ssaalongo Nsubuga

Bya VIVIEN NAKITENDE
 
SSAALONGO ne Nnaalongo balidde matereke nga buli omu alumiriza munne okubba ettaka lye bakaayanira e Kabowa.
 
Baabadde mu lukiiko lw’ekyalo mu zooni ya Ssuuna e Kabowa olwayitiddwa ssentebe w’ekyalo Dennis George Katwere ng’ali wamu ne RCC wa Kampala, Faridah Mayanja
Mpiima okugonjoola ensonga za Ssaalongo Moses Nsubuga ne Nnaalongo Ronah Nakirijja.
 
Ekibanja ekibakaayanya kiwerako ekitundu kya yiika nga kuliko ennyumba z’abapangisa wabula buli omu agamba kikye.
 
Ssaalongo Nsubuga aleese ebiwandiiko ebiraga obwannannyini ku kibanja kino ekisangibwa mu zooni ya Ssuuna ekiri ku bugazi bwa fuuti 150, ku 250 ne 250.
 
Ssaalongo agamba; yagula ekibanja kino e Kabowa mu 1987 ku mugenzi Francis Bugembe Ssaalongo ku 60,000/- nti wabula yabeeranga bbize mu bwamakanika
bwe yalinga akola, ng’awa nnaalongo ssente okuzimba.
 
Agamba nti, yayawukana ne Nakirijja mu 1997, wabula n’alemera mu mayumba g’abapangisa agabakaayanya kati, olw’okuba yalina abaana abato, aboobuyinza ne bamulagira amulekere amayumba akulizeemu abaana n’okubaweerera nti wabula kati abaana bonna baamala okusoma, ayagala kweddiza mayumba ge, Nnaalongo
ky’awakanya.
 

 

Nnaalongo Nakirijja ategeezezza nga bwe yagula ekibanja kino mu 1988 ku 60,000/- ku mugenzi Bugembe mu bitundutundu, wabula ekitundu ekyasembayo yali agenda kuzaala kwe kutuma Ssaalongo amusasulireko, kyokka yagenda okukomawo nga
Ssaalongo endagaano aziwandiise mu mannya ge.
 
Bwe baayogera ku nsonga eno n’amugumya n’okumusuubiza nti talimwefuulira, kyokka kati yeewuunya okulaba ng’avuddeyo okukaayanira ebintu by’amanyi obulungi nti ssi bibye.
 
RCC Mayanja agamba nti bano balina okusooka okutuula bakkaanye kuba okusinziira ku biwandiiko ebiriwo Nsubuga ye nnannyini.
 
Ayongedde okubayita mu ofiisi ye bongere okuteesa ku nsonga zaabwe.
 
Dennis George Katwere, ssentebe wa zooni ya Ssuuna e Kabowa agamba nti Ssaalongo Nsubuga yaleetako abapunta bapime ettaka atunde, naye olw’enkaayana
baasalawo bakuyimirize.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...