TOP

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2019

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza

Jip2 703x422

Abaana nga bayita mu mazzi aganjadde mu kkubo.

Emirimu mu disitulikiti y’e Mukono gisannyaladde ng’entabwe eva ku nguudo embi n’emigga egyawaguzza amazzi ne ganjaala mu kkubo ne galemesa abatambuze n’abaana abagenda ku masomero.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Andrew Ssennyonga yagambye nti, amagombolola agasinga okubeera obubi ye; Nakisunga, Kimmenyedde, Ntunda, Nama, Naggojje, Kyampisi, Mpatta, Mpunge, Seeta-Namuganga, Kkoome ne Nakifuma tawuni kkanso.

Mu ggombolola y’e Nakisunga, abaana abakozesa oluguudo oluva e Kayanja okudda e Seeta-Nazigo nga bagenda ku masomero kati batambula olugendo luwanvu. Sylvia Buyinza ow’e Seeta- Nazigo yagambye nti embeera eno esinze kukosa abayizi abasomera ku Kungu-Bahai ng’omugga gwa Ssezibwa gwawaguza amazzi ne ganjaala mu kkubo ng’abayizi babadde tebasobola kugayitamu.

“Ng’abazadde, twakiraba nga kyabulabe okusindika abaana ku ssomero ng’omugga guyinza okubatwala. Naye kati ng’amazzi bwe gagenze gakendeera, batandise okusoma, kyokka ekizibu enkuba ekyatonnya”, bwe yagambye Bukedde bwe yatuuse mu kifo kino yasanze abayizi ba Kungu-Bahai nga basala mazzi okudda eka naye ng’embeera nzibu n’abamu bakira okusaza bannaabwe amazzi babaweeka ku migongo.

Fatuma Namukose, omu ku bayizi yagambye nti buli nkuba lw’etonnya amazzi ne ganjaala mu luguudo bazadde baabwe nga babagaana okusoma. Namukose yagambye nti wadde ng’amazzi gakendedde, naye okusala omugga balina kusooka kuggyamu ngatto nga n’abamu basomera mu bigere ne nniigiina oba lugabire eziteetaagisa kusooka kuggyamu.

Aliziki Namirembe, omusuubuzi yagambye nti olw’embeera embi mu kiseera kino, bawalirizibwa n’okusula ku mirimu mu kibuga ng’enkuba etonnye olw’okutya amazzi agabeera amangi nga gazibye oluguudo.

Namirembe yagambye nti n’ebirime bivundira mu nnimiro kubanga abavuzi ba bodaboda abandibadde babitwala mu katale bagaana nga batya okugwa mu mugga. Yagambye nti mu kiseera kino, bodaboda okuva e Nakisunga okugenda e Seeta-Nazigo ebaggyako 8,000/- nga zibadde 2,000

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...