TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2019

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Buk2 703x422

Ababazi nga basitudde Mpanga gwe baalonze okubakiikirira.

GAVUMENTI egenda kuwa ekibuga ky’e Lugazi obuwumbi 40, zibayambe okusituula endabika yaako okutuuka ku mutindo ogwetaagisa. Ssente zino zigenda kussibwa ku akawunta ya munisipaali nga muteekateeka eno bagenda kulonda olukiiko lw’abatuuze olugenda okuyamba ku bakulembeze okulaba nga ssente zino zikozesebwa emirimu egigenda okuyamba abantu b’e Lugazi.

Bino byayogeddwa abakungu abavudde mu minisutule y’ebyettaka n’okusitula ebibuga abaasisinkana abantu b’e Lugazi ne balonda olukiiko lw’abantu 23 olugenda okukuhhaanya ebirowoozo by’abatuuze nga balaga bye baagala bikolebwa mu ssente zaabwe.

Abakungu bano baakulembeddwaamu Devine Nakiguli Kibuuka baategeezezza abatuuze abaabadde ku kisaawe kya St. Kizito P/S e Lugazi nti olukiiko lujja kubaako, abasuubuzi, ababazzi, bamakanika, aba wooteeri, abookya ebyuma, ababeera mu nzigotta, abasomesa, abatembeeyi, abavubuka, abalema, abakadde n’abalala.

Ensimbi zino eziweebwa munisipaali mu nteekateeka ya Municipal Development Forum (MDF) abantu baabulijjo balina okuba nga beetaba butereevu mu kumanya ensaasaanya. Eyalondeddwa okukulira akakiiko k’abatuuze era nga ye ssentebe w’abasuubuzi mu Lugazi, Birooli Solomon Kabisa yagambye nti akakiiko ke kamalirivu okukola ebikasuubirwaamu okulaba nga balondoola ssente z’omuwi w’omusolo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.