TOP

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2019

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Hot2 703x422

Lt. Col. Henry Obbo ng’asisinkanye aba LDU e Kyambogo

ABA LDU abassibwa mu Kampala n’emiriraano bagambye nti okusoomoozebwa kwe basinga okufuna kuva mu bantu abatannategeera mulimu gwe bakola.

Mu lukiiko mwe baasisinkanidde abakungu okuva mu magye ku yunivasite e Kyambogo, baagambye nti embeera y’abantu obutamanya mulimu gwabwe ebaleetera okusoomoozebwa okw’amaanyi.

Baasisinkanye omwogezi w’amagye ag’okutaka Lt. Col. Henry Obbo, omwogezi w’ekibinja ekisooka mu magye Maj. Biral Katamba nga mu nsisinkano eno baalaze ebituukiddwako bukya aba amagye ga LDU gatandika okukuuma.

Lt. Henry Obbo yagambye nti okusoomoozebwa kwe balina be bantu okudda mu mikutu gy’empuliziganya ne batandika okuvumaganya aba LDU nga bawandiika ebigambo ebikuma mu bantu omuliro n’okwogerera ekitongole ebisongovu nga bagamba nti bukya baleetebwa mu bantu obubbi bweyongedde kye yagambye nti si kituufu.

Yagambye nti obubbi bwaliwo ng’aba LDU bagezezaako okubukendeeza wakati mu kusoomoozebwa olw’abantu abagenda mu maaso n’okutirimbula Bannayuganda n’okubanyaga.

Yagenze mu maaso n’agamba nti waliwo abantu abeemulugunya nti abantu baabwe be baasindika okwegatta ku LDU tebaabawa n’agamba nti abantu be baaweereza baayingizibwa mu LDU kyokka baagabibwa mu bifo ebyenjawulo ng’okusalawo kwa bakamanda baabwe bwe kuli. Yagambye nti aba LDU bayambye okulwanyisa obubbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Goat46 220x290

Abantu basalawo batya okwambulira...

NAYE nga ddala lwaki Bannayuganda balemwa okwambalira emikolo gy’abantu ne basalawo okwambalira embuzi obubuzi...

Kol0 220x290

Katikkiro akubirizza Bannamawokota...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza ensangi zino byetaaga okutumbula ebitone by'abaana, okubateekamu...

Kibwa0 220x290

Ab'e Katooke beegugunze ne baziba...

ABATUUZE b'e Nabweru mu Kibwa beegugunze ne baziba oluguudo lw'e Katooke - Kibwa nga balaga obutali bumativu olw'embeera...

Yokya 220x290

Ajereze omukazi n’anyiiga n’amuyiira...

POLIISI ekutte omukazi agambibwa okwokya mukwano gwe olweje oluvannyuma lw’okumujerega.

Muzaata 220x290

Ensi egudde eddalu! Muzaata afuuka...

SHEIKH Muzaata baamuyise kulya n’adda mu kubala abaana! Mu kugenda ku mukolo gw’okukyaza abako, eyandikulembeddemu...