TOP

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2019

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Lab2 703x422

ABAVUBUKA basatu abadduse ku bayeekera ba ADF balojja ebikolwa eby’ekko bakama baabwe bye babadde babakozesa omuli okuwamba abantu, okutta n’okutulugunya Bannayuganda.

Bano, beewaddeyo mu mikono gy’abeebyokwerinda ne bategeeza nti, bakooye okutta abantu abatalina musango ne basaba baweebwe obukuumi kubanga okudduka mu ADF, obulamu bwabwe baabutadde mu matigga.

Abadduseeyo kuliko; Derrick Jjumba oluusi eyeeyita Brian Mugwanya ate ebiseera ebimu nga yeeyita Shafiq. Mutabani wa Godfrey Lukwago omu ku basajja abaakwatibwa mu by’okulumba ekizimbe kya Muto Complex e Masaka mu July wa 2018 ne banyaga ssente ku dduuka ly’ebizimbisibwa erya Muto Hardware ku mudumu gw’emmundu.

Jjumba yagambye nti, alina emyaka 18, ng’okuyingira ADF, kitaawe ye yamutwalayo nga yakamala S4 wabula ebbanga ly’amaze n’abayeekera ba ADF mu nkambi y’e Mutukula, abantu be babadde batta n’okutulugunya yakizuula nti tekuli alina musango kyokka nga talina bw’ayimiriza bakama be.

Yagambye nti, ensonga eyamuddusizza mu ADF, kitaawe bwe yamala okubba, abakulira enkambi be batwala ssente zonna abeebyokwerinda bwe baakwata abateeberezebwa okubeera ababbi ne kitaawe baamukwatiramu ne bamuggalira kyokka be yakolera omulimu tebaamuyambye kumuggya mu kkomera.

Lukwago y’omu ku baasimbibwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa emisango gy’obubbi n’okutta abantu n’asindikibwa e Luzira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...