TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2019

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Kab2 703x422

Bya Florence Tumupende

NNAMWANDU ne bamulekwa bali mu kattu olw'okutisatiisibwa mulamu we Hamiduh Gwegye eyezza emmaali yaba mulekwa okuli amayumba ga bapangisa,ennyumba ey'amaka kwossa n'obukadde 13.

Aidah Nabuuma Babirye yasobeddwa ewaka n'emukibira olw'okubulwa wabundabundanga buli kumpi wakuba omutwe agobebwawo sikulwa nga abamubudamiza nabo batuusibwa obulabe nga bwagenda ayogera okubagobereza Hussein Yga.

Bino webigidde nga Hamidu Gwegye yezibika emmali yabamulekwa mu ngeri y'olukujjukujju oluvannyuma lwa mugandawe Yiga omutonzi okumujjulula mu bulamu bwensi nga 24/July/2015

Nnamwandu Nambuusi yekokodde poliisi y'e Kyazanga ne kkooti ye Kyazanga byagambye nti tebimuyambye olw'okudda ku ludda lwa mulamuwe olw'okuba alina ensimbi zabapookera nga ne bwabawa obukakafu nga bwagenda okuttibwa basigala babalaata ekyongedde okumweralikiriza.

Nambuusi agamba nti akeesa lukya nga nkoko yamutamiivu nga nennyumba gyabadde akyakumidemu bamulekwa Gwegye yakamutemye nga bwagenda okugimutundira kumugongo sinakindi agimuzikemu.

Wano asabye abakulembeze okuli omubaka omukazi owa Cissy Namujju,ebitongole ebitabaganya amaka okusitukiramu bamutaasa kirabike ng'alamulwa mu bwenkanya kyagambye nti ebintu mulamuwe byeyezza yabikola ne bba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...