TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasse owa Mobile Money bamukutte amasasi ne gavuga

Eyasse owa Mobile Money bamukutte amasasi ne gavuga

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Eyasse owa Mobile Money bamukutte amasasi ne gavuga

Kat1 703x422

Ebbaala ya Happy Boyz e Namasuba we baakwatidde abatemu.

AMASASI ganyoose nga abeby’okwerinda abeegattira mu kitongole ktya JAATT bakwata eyali omujaasi wa UPDF alumirizibwa okutta owa Mobile money gwe baakuba amasasi n’omukoziwe.

Harriet Nalwadda n’omukoziwe Maureen Nakabuubi battibwa e Zana mu kiro ekyakeesa Olwokubiri lwa wiiki ewedde. Abaserikale okuva mu kitongole kya JAATT ne CMI basazeeko ekifo ekiyitibwa Happy Boyz e Namasuba amasasi ne gatandika okwesooza.

Abadigize n’abaabaddewo baabunye emiwabo ng’amasasi geesooza era mu bwangu abasirikale beesozze ekizimbe ne bakukunulayo abasajja babiri. Baabasanze n’emmundu ekika kya SMG/AK47.

Emmundu eno bwe yakebeddwa, kyazuuliddwa nti ye yakubye amasasi agasse aba Mobile Money okusinziira ku bisosonkole ebyaggyibwa awattirwa abagenzi.

ABAAKWATIDDWA BOMBI BAJAASI BATENDEKE

Mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku Lwomukaaga, poliisi yannyonnyodde nti, we baabakwatidde, baabadde emmundu eno bakagyeyambisa mu bunyazi bwa mirundi etaano mu bitundu eby’enjawulo.

Abatemu bano kigambibwa nti okuva lwe batta abawala baasalawo kwekukuma mu kifo ekyo ekya Happy Boyz gye baabakukunudde. Abasajja bano okukwatibwa kyaddiridde okukola ekikwekweto mwe baakwatidde omusajja Stanley Mulunda e Masanafu mu Munisipaali y’e Lubaga eyabuulidde abasirikale nti waliwo banne abalala b’akola nabo era baliko ekifo ekisanyukirwamu we beekwese, abasirikale kwe kugendayo okubakwata.

Abaakwatiddwa ye mujaasi nnamba RA21706 Denis Mangusho ne Emma Onenchan. Mangusho y’omu ku bantu abaasangiddwa ku biwandiiko bya kkooti poliisi bye yaggye mu nnyumba ya Mulunda e Masanafu gye yawaanyisiganyirizza ebyaasi n’ababbi ne bakuba omu ku baserikale ba poliisi okugulu ate omutemu omu David Kasirye agambibwa okubeera omujaasi wa UPDF n’adduka n’emmundu.

Olukalala okuli n’erinnya ly’omujaasi ono Bukedde yasoose kulifulumya mu mawulire ga Bukedde ku Ssande ng’abamu ku bajaasi abaakwatibwa mu bubbi n’okutta mu 2015 kyokka oluvannyuma kkooti n’ebayimbula ng’ebuliddwa obujulizi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti oluvannyuma lw’okufuna amawulire okuva ku Mulunda, poliisi yagenze e Zana n’ebakukunula mu nnyumba we babadde babeera ssaako n’okuzuula emmotoka gye babadde bakozesa okutambuliramu nga bagenda okubba. “Okuva ebikolwa by’ettemu lwe byatandika okubeerawo tubadde tukola okunoonyereza okuzuula abakwenyigiramu era oluvannyuma lw’okukwata Mulunda twasobodde okukwata abasajja ababala babiri n’okuzuula emmundu endala gye babadde bakozesa” Enanga bwe yategeezezza.

Mangusho yavunaanibwako mu kkooti emisango gy’obubbi era ng’ebiwandiiko poliisi bye yazudde mu kikomera e Masanafu erinnya lye liri nnamba ssatu ate ye Onenchan, erirye teryabaddeko kyokka y’omu ku babbi ab’olulango abaludde nga bayiggibwa.

ENGERI GYE BAAKWATIDDWAAMU Omu ku batuuze Badiru Kabuye yagambye nti, yabadde ku bbali n’awulira amasasi nga gavuga.

Yasoose kulowooza nti emmotoka ekika kya Subaru y’eyitawo, wabula mu kaseera katono amasasi amalala ne gavuga. Agenda okulaba ng’abantu badduka okuva ku Happy Boyz e Namasuba.

Mu kwetegereza agenda okulaba omusajja ali mu leeya ng’akuba amasasi ng’adduka. Yagasseeko nti, mu kaseera katono abaserikale beesozze ebbaala ya Happy Boys ne bakwata abasajja bonna abaabadde munda. Abamu mu kubaaza baabasanze n’emmundu ekika kya pisito ne babakwata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...