TOP

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu

Pop1 703x422

Fred Enga ng'annyonnyola

ENANGA yategeezezza nti okunoonyereza poliisi kwe yakoze naddala ku bisosonkole by’amasasi kyazuuliddwa nti emmundu eyasangiddwa ne Mangusho ye yakozesebwa okutta Harriet Nalwadda n’omukozi we Moreen Nalwadda abakubwa amasasi nga June 6 2019 amasasi agaabattirawo era nga kiteeberezebwa nti Mangusho ye yagamukuba okusinziira ku bisosonkole by’amasasi ebyasangibwa e Zana n’amasasi agaasangiddwa mu mmundu ya Mangusho.

Yagambye nti era baakizudde ng’abaakwatiddwa era bwe beenyigira mu bunyazi obwenjawulo omwali okuteega abantu e Kimaanya Masaka bwe bateega mmotoka nnamba UBA 874 ku mudumu gw’emmundu ne bagibba oluvannyuma baagitunda mu ggwanga lya South Sudan.

Yannyonnyodde nti era abazigu bano nga May 4 2019 baateega omusuubuzi okuva mu ggwanga lya Turkey ne banyaga ebintu bye ebyali mu mmotoka wabula kamera z’oku luguudo ne zikwata ebifaananyi by’emmotoka gye baali batambuliramu.

Okunoonyereza era kulaga nti abazigu bano era be baalumba omusuubuzi wa Mobile money Denis Mwesigwa owe Nateete Church zooni ne bamubba emitwalo 61 nga mu kumubba baakuba omuvubuka Raphael Walugembe amasasi agaamuttirawo bwe yali ava mu nnyumba ya bazaddebe.

Enanga yagambye nti era abazigu bano beenyigira mu kubba omukazi Sanyu Nalukwago nga May 17 2019 bwe baamulondoola okuva e Nateete gy’akolera okutuuka e Kitende Cell A ne bamubbako obukadde 16 ku mudumu gw’emmundu era nga baali batambulira mu mmotoka nnamba UBE 418A nayo eyazuuliddwa.

Yagambye nti okuva ekikwekweto okulwanyisa abazigu kitandika baakazuula emmundu 3 nga bbiri zaggyibwa mu kikomera e Masanafu ng’endala yazuuliddwa e Zana.

Yategeezezza nti okunoonyereza kwe baliko kati kwe kuzuula oba abazigu bano balina akakwate ku bunyazi obuzze bubaawo okuli ku Cheap Hardware e Nansana , ku Super Market e Mpereerwe n’e Mbale abazigu bwe batta omusirikale wa Flying Squad mu kuwaanyisiganya amasasi.

Yagambye nti abakwatiddwa bavunaanibwa emisango 3 egy’okutta, emisango 6 egy’okubbisa emmundu n’okusangibwa n’emmundu mu bukyamu. Mangusho ne Ochan baali bajaasi mu ggye lya UPDF oluvannyuma ne baddukayo bwe beenyigira mu bikolobero ebyenjawulo nga Ochan yakuba mujaasi munne amasasi.

Yagasseeko nti era poliisi ng’ekolaganira wamu n’ebitongole ebirala okuli ISO ne CMI baliko abazigu abalala be bakyanoonya nga Richard Kasirye ng’ono ye yatoloka bwe yakuba amasasi n’abula ku basirikale.

Mu kwaza ekikomera e Masanafu abasirikale balina ebiwandiiko bya kkooti bye baazuula okwali amannya ag’enjawulo okuli abajaasi , Denis Mangusho, David Wamala, Edward Mubbale, John Koka Ochom Frank Jumba , Jefferi Ddembe , Yusuf Jjingo, Rajab Mulwanya ne Kamada Ssentamu .

Ate ekiwandiiko ekirala kwaliko Denis Mangusho, David Wamala, Edward Mubbale, Frank Jjumba amanyiddwa nga Salongo Small, ne Jaffer Ddembe amanyiddwa nga Ssaalongo Fat

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...