TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Mim1 703x422

Moureen Monicca Namatovu, muwala wa Tamale Mirundi gwe yabbula mu nnyina yabadde tannafa baasoose kumulongoosaamu mwana n’avaamu omusaayi mungi. Namatovu yafiiridde mu ddwaaliro e Mengo ku Lwomukaaga ku ssaawa 6:00 ez’emisana ng’abasawo baakamulongoosaamu omwama omuwala.

Ensonda mu ddwaaliro e Mengo zaategeezezza nti oluvannyuma lw’okumulongoosaamu omwana, Namatovu embeera ye yeeyongedde okutabuka olw’omusaayi omungi ogwabadde gumuvaamu ekyatabudde abasawo abaabadde bamukolako.

Kyabawalirizza okumuteeka ku byuma kubanga yabadde takyasobola kussa bulungi. Omugenzi yabadde mu kasenge ak’abakungu ku Albert Cook mu waadi ya Annie Walker East era nga wabweru wa waadi eno we bwazibidde ku Lwomukaaga ng’abooluganda n’emikwano bagenda mu maaso n’okukuhhaana ku ddwaaliro.

Mu bano mwe mwabadde ne kitaawe w’omugenzi Joseph Tamale Mirundi ng’ono amawulire g’okufa kwa muwala we gaamusanze ku mukolo gwa Top Radio e Bwaise. John Baptist Kyeyune owooluganda lw’omugenzi yategeezezza nti Namatovu yafiiridde ku myaka 32, ng’ono abadde mwana we waakubiri.

Yagambye nti tebalina gwe banenya ku mbeera eyaguddewo kubanga abasawo baakoze kye basobola kyokka ne bigaana. Omulambo gw’omugenzi gwaggyiddwa e Mengo ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ne gutwalibwa e Mityana ewa nnyina w’omugenzi gye gwaggyiddwa oluvannyuma okutwalibwa ku kyalo Matale - Kalagala e Kaliisizo gye yaziikiddwa eggulo.

ABAKULIRA EDDWAALIRO BATANGAAZIZZA Dr. Patrick Luwagga omumyuka w’akulira eddwaaliro lye Mengo yategeezezza nti Namatovu yatuuse mu ddwaaliro ku ssaawa 12:30 ez’oku makya ku Lwomukaaga era omusawo eyasoose okumulaba n’amwekebejja n’amutegeeza nga bwe yabadde ajja okusobola okusindika omwana nga naye bwe yabadde ayagala.

Wabula oluvannyuma lw’essaawa emu, bazzeemu okumwekebejja ne bakizuula nti tajja kusobola kusindika mwana ne bamutwala okumulongoosa kyokka n’avaamu omusaayi mungi ne basalawo okumuteekako omusaayi kyokka baabadde bamuteekako eccupa ssatu n’afa.

Dr. Luwagga yagambye nti bakoze kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwa Namatovu okwabadde n’okuddamu okumulongoosa naye embeera n’egaana era ng’avaamu omusaayi omungi kye kyamuleetedde okufa.

TAMALE MIRUNDI ASESEZZA ABAKUNGUBAZI Omukolo ogwabadde ogw’ennaku, gwabaddemu katemba ekyaleetedde abakungubazi okuseka. Tamale Mirundi bwe yakutte akazindaalo, yasookedde ku kwetondera mukoddomi we Jonathan Kajubi (bba w’omugenzi) n’abooludda lwe nti baleme kutya nga balowooza nti olw’obukambwe bw’atera okwolesa, ayinza okubatwala entyagi!

Mirundi yabategeezezza nti akimanyi okufa kwazze era talina bw’ayinza kukibassaako nti baalagajjalidde muwala we n’afa. Yagambye nti akimanyi mukambwe kyokka obukambwe bwe tebuyinza kumutuusa kukuba bako kubanga muwala we yafiiridde mu kuzaala ng’omukazi omulala yenna bwe kiyinza okumutuukako.

N’agamba nti ye obukambwe abukola ku bantu abamukolako effujjo be yayogeddeko nti ne mu kuziika abamu baabaddewo kyokka n’abalabula nti amaze okutuma mutabani we ‘embazzi’ abakoleko singa balitandika. Okuziika kwetabyeko bannabyabufuzi bangi okuva mu gavumenti n’abooludda oluvuganya gattako abanene n’abeebitiibwa abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.