TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Got2 703x422

ABAKUNGU ba bbanka enkulu abaakwatiddwa mu kikwekweto ekyaduumiddwa Lt. Col Editth Nakalema ku bigambibwa nti waliwo ssente obuwumbi 90 ze baayingiza mu ggwanga mu bumenyi bw’amateeka, baggudwaako emisango gya nnaggomola ebiri ku fayiro nnamba 651/2019.

Okusinziira ku kiwandiiko kya Poliisi Bukedde kye funyeeko kkoppi, abaakwatiddwa bagguddwaako; okukozesa obubi ofiisi zaabwe, n’omusango ogw’okwekobaana n’ekigendererwa eky’okubba ssente za bbanka ya Uganda.

Kigambibwa nti ekkobaane lino lyalimu n’abanene okuva mu bitongole ebirala okuli ekivunaanyizibwa ku ntambula y’ennyonyi ku kisaawe e Ntebe ekya Civil Aviation Authority (CAA) n’ekitongole ky’emisolo mu ggwanga ekya URA.

Kigambibwa nti abanene bano beeyambisa omukisa nga waliwo ssente ezigenda okutikkibwa ku nnyonyi zireetebwe mu ggwanga, wabula mu kifo ky’ebifuluusi 20 ebyali birina okuba ku nnyonyi, abanene baayongeramu ebisawo ebirala bitaano (5) omwali obuwumbi 90 nga zaabwe za kugabana.

Kigambibwa ssente zino zaali ziggyibwa mu Bufalansa nga ku zino, ebisawo 20 ebyalimu obuwumbi 350, ze zaali eza bbanka enkulu, ate ebisawo ebirala ebigambibwa okuba nga byakukusibwa byalimu obuwumbi 90.

Ku Lwokusatu, Caroline Nankabirwa avunaanyizibwa ku kugula n’okutunda mu bbanka enkulu, yakwatiddwa n’atwalibwa ku Poliisi y’oku CPS mu Kampala ne banne okwabadde Simon Peter Zaribugire, omukungu wa avunaanyizibwa ku kuluhhamya ku bya ssente n’abalala.

Ensonda mu Poliisi zigamba nti Nankabirwa yayimbuddwa ku kakalu ka Poliisi wamu ne Zaribugire, wabula ne balagirwa okweyanjula ku Lwokusatu nga June 19, 2019 ku ssaawa 4:00 ez’oku makya eri AIGP Grace Akullo, akulira bambega ku kitebe ekikulu e Kibuli. Nankabirwa yeegatta ku bbanka enkulu ng’ava mu bbanka ya Stanbic so nga Zaribugire yali akolera mu URA.

Ensonda era zaategeezezza Bukedde, oluvannyuma lw’okukwata abanene bano, abeebyokwerinda bakkiriziganya buli omu okumwawula ku mulala kireme kutaataaganya kunoonyereza kwabwe. Abalala abanoonyerezebwaako kuliko; Julie Piloya, Milton Baluku, Francis Kakeeto, Baker Kikabi, Fred Wanyama n’abalala. Abamu baatwalibwa ku CPS, abalala ku SID e Kireka, ate abalala ne batwalibwa e Mbuya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...