TOP

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

By John Bosco Mulyowa

Added 17th June 2019

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Deb2 703x422

Omwana Grace Nayiga ow’omwaka ogumu n’ekitundu eyawambiddwa.

ABAZADDE basattira oluvannyuma lw’abantu abatannamanyika okubba omwana waabwe ow’omwaka ogumu n’ekitundu ne batandika okubakanda ensimbi okubalagirira omwana we bamukuumira! Abazadde mu kwesansabaga baasindise emitwalo 50 ku ssimu eyabaweereddwa, kyokka abantu bano ne babajerega nti obusente babaweerezza bwa kugulira mwana byakulya.

Baabagambye babasindikire obukadde busatu mu bwangu nga tebannabategeeza kiddako! Obunkenke buno buli mu zooni ya Mukudde mu kibuga Nyendo. Omwana eyawambiddwa ye Grace Nayiga ng’ono muwala wa Celement Kamoga ne Betty Ndagire.

Kigambibwa nti omwana ono yabadde atumiddwa ne banne ku dduuka erimu okusasula ssente z’ekisowaani kya ttivvi, abantu bano ne babalimbalimba nga babagulira capati, olwo omuto Grace ne balinnya naye pikipiki ne bamutwala.

Kigambibwa nti bano bwe baatuuse ku Total Highway mu Nnyendo baafunye owa bodaboda gwe baawandiikidde ennamba yaabwe ey’essimu ne bagimuwa okugitwalira kitaawe w’omwana ono Kamoga nga bamuwa ebiragiro okubakubira mu ddakiika ttaano zokka bamubuulire ekiddako!

Owa bodaboda mu kutwala ennamba yasanze Kamoga addukidde ku poliisi y’omu Nnyendo okuloopa omusango gw’okubba omwana we.

Essimu bwe yagikubyeko baamulagidde okubawa obukadde busatu. Omwana yabbiddwa ku Lwomukaaga akawungeezi era we bwakeeredde ku Ssande nga tannamanyibwako mayitire ng’ate n’essimu abaamuwambye gye baabadde bakubako okusaba ssente teriiko, ekyayongedde okubeeraliikiriza!

Omu ku batuuze mu kitundu kino era omwami wa Kabaka atwala Mukudde, Kasujja Bakokyoyiga yategeezezza nti baafubye okusonda ku nsimbi kyokka batidde olw’essimu y’abaawambye omwana ate okuggyibwako ne balaajanira ebitongole ebikuumaddembe naddala poliisi okubayamba ku nsonga eno.

Omwogezi wa poliisi e Masaka Paul Kangave yategeezezza nti poliisi ekola ekisoboka okuzuula abantu abaawambye omwana era abalina amakubo ge bakutte okulaba nga gabatuusa ku bantu bano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...