TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

Gat2 703x422

PULEZIDENTI Museveni alambudde omulimu ogukolebwa ku luguudo oluva e Soroti okutuuka e Moroto n’asaba abatuuze okulweyambisa okwegobako obwavu mu maka nga bayita mu busuubuzi n’okunoonyeza ebirime byabwe obutale obw’omulembe.

“Omulimu ogwakalolebwawo mulungi ddala, wabula ng’enguudo ebiseera ebimu gye zikoma okubeera ennungi n’obumenyi bw’amateeka nga nabwo bweyongera omuli okukukusa ebyamaguzi n’engeri endala naye mmwe mulweyambise okwegobako obwavu mu maka,” Museveni bwe yagambye.

Yabadde mu kabuga ke Orungo mu ggombolola ye Usuk mu disitulikiti ye Katakwi ku Lwomukaaga akawungeezi oluvannyuma lw’okulambula omulimu ogukolebwa ku luguudo luno olwa kkirommita 150 olwapatanibwa mu bitundu bibiri okuli ekya kkirommita 100 nga kino kikolebwa aba China Communication Construction Company Ltd. (CCCC) nga balondoolwa aba M/S GIBB Africa Ltd wamu n’aba MBW Consulting.

Ekitundu ekyokubiri ekya kkirommita 50.3 nga kiva Akism okutuuka e Moroto nga kyapatanibwa kkampuni ya China Railway No.3 Engineering Group nga balondoolwa ba M/S COWI ng’oluguudo lwonna lukoleddwa ssente za Gavumenti ya Uganda eziwera obuwumbi 640.

Ye Mark Ssali, omwogezi wa UNRA yagambye nti omulimu gwonna gusuubirwa okuggwa mu November omwaka guno kuba ekintu ekisinga obunene kimaze okuggwa era nga kyamala okubakwasibwa mu butongole.

Omukolo guno gwetabiddwaako ebikonge bya gavumenti eby’enjawulo omuli omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea, Anita Among, Minisita Aggrey Bagiire ng’ono ye minisita omubeezi ow’ebyentambula, Captain Mike Mukula , ssentebe wa UNRA Fred Omach n’abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Maama afudde n’abaana be

Maama afudde n’abaana be

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...