TOP

Temuva mu ddiini za bakitammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Omulabirizi eyawummula owa Central Buganda, George Ssinabulya yennyamidde olw’abaana abasuulawo eddiini bazadde baabwe mwe baabakuliza ne babuukira enzikkiriza empya.

Bp 703x422

Bp. Ssinabulya ng’assaako abaana emikono e Kanyanya.

Bya REGINAH NALUNGA
 
 
Omulabirizi  eyawummula owa Central Buganda, George Ssinabulya  yennyamidde olw’abaana abasuulawo eddiini bazadde baabwe mwe baabakuliza ne  babuukira enzikkiriza empya.
 
Bino yabyogeredde ku kkanisa ya St. Luke mu busumba bw’e Kanyanya gye yakiikkiridde omulabirizi w’e Namirembe, Bp. Wilberforce Kityo Luwalira mu kusaba okw’okussaako emikono.
 
Ennaku zino ekigambo ky’okusagaasagana  mu ddiini kiyitiridde, abantu basoma Bayibuli ng’abataluhhamizibwa Mwoyo wa Katonda. Abaana bavudde mu ddiini ze baababatirizaamu olw’okuba banoonya ebyamagero mu bannabbi ab’obulimba.
 
Wadde amadiini mangi gameruseewo, mmwe mubeere banywevu mwekuume  muleme okugwa musobole okutuuka mu maaso ga Katonda nga musaanidde.
 
Ku mukolo gwe gumu, Bp. Ssinabulya yatongozza ekitabo ekyatuumiddwa “Kanyanya obusumba bw’ebyafaayo” ekyawandiikiddwa Abakristaayo nga bakulembeddwa Geoffrey Kulubya omukubiriza w’obusumba buno.
 
Kulubya yayanjulidde omulabirizi n’Abakristaayo lipoota y’obusumba , eraga obuwanguzi n’ebyo bye bakoze mu 2018.
 
 Omukolo gw’etabiddwaako ne Ven. Cyrus Musoke ow’Obussaabadinkoni bw’e Gayaza, Rev. Fredrick Lubega, Esther Kawooya omubulizi ku St.Luke n’abakristaayo bangi
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...