TOP

Eyalumbye owa difensi akwatiddwa

By Moses Lemisa

Added 17th June 2019

Ono omusango gw’okutta agwegaanye ng’agamba yabadde agenze kumukangamu.

Muwanga1 703x422

Amaka ga Muwanga Kabuuma (mu katono waggulu ge yalumbye.)

Bya  MOSES LEMISA
 
 
AKULIRA ebyokwerinda mu Mini Triangle asimattuse okufa bwe baamulumbye mu maka ge mu matumbibudde. Meddi Kabuuma 23,  akola fuleemu z’entebe omutuuze mu Mini Triangle zooni  mu muluka gwa Makerere I e Kawempe kigambibwa nti mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano  yalumbye amaka ga Umar Muwanga omu bakulira ebyokwerinda mu Kitundu ng’amulanga  okuyoolanga abavubuka  b’omu kibinja kye. Baamulumirizza okwagala okutta Muwanga.
 
Ono omusango gw’okutta agwegaanye ng’agamba  yabadde agenze kumukangamu.
 
 “Afande amazima difensi atumazeeko emirembe buli kiseera atuwendulira obuserikale ne butuyoola kale eky’okulumba okuwolera si kyegaana naye nabadde sigenda kumutta obuzibu bwe nakoze kulumba maka ge ekiro. Ky’alina okumanya nti e Luzira  bansibiddeyo nnyo sirina kye ntyayo ate nja kuvaayo nzire ku kyalo ”Kabuuma bwe yeeweredde  Muwanga.    
 
 uwanga Muwanga

 

John Kalyowa yategeezezza nti Kabuuma okulumba amaka ga Muwanga yabadde amaliridde okumutta kuba yabadde n’ebissi  era ekyayambye  Muwanga  teyabaddemu mu nju yabadde n’abaserikale nga balawuna ekitundu.
 
Yagambye nti Kabuuma yasoose najja ku ssaawa 5:00 ez’ekiro n’abuuza abaana  kitaabwe gyali ne bamuddamu nti tebamanyi gy’alaze naddayo 
 
Yagasseeko nti Muwanga yazzeeyo ku  ssaawa 9:00  ez’ekiro abatuuze ne bamutaayiizza ne bayita poliisi  n’emukwata.
 
Umar Muwanga   gwe baalumbye yagambye  nti  Kabuuma  mwana nzaalwa ya mu kitundu ng’azze yeenyigira mu bumenyi bw’amateeka obw’enjawulo n’atwalibwa mu kkooti n’avunaanibwa wabula olukomawo n’atandikira we yakoma. 
 
Kabuuma alina ekibinja ky’abavubuka  abamenyi  b’amateeka   ng’abamu bava mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo  ng’enjaga baginywa mu budde bwa makya, ssaawa 7:00 n’akawungeezi.
 
Yagasseeko nti ekiro basalako enguudo okuli  olwa  Binaisa, Bombo Road, Mawanda Road ne bakuba abantu ng’abamu bambala engoye ezisoba ssatu  n’ekigendererwa ky’okukyusa nga bamaze okubba.
 
Kabuuma yagguddwaako omusango  ku fayiro nnamba SD REF:02/14/06/2019

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Allegri2 220x290

Allegri ayagala kukola na Evra...

Allegri ayagala bamuwe ogw'okutendeka ManU era agamba ni waakukola ne Evra.

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...