TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda ky’embaawo e Bwaise

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda ky’embaawo e Bwaise

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda kyabwe nga bagamba nti ku Lwomukaaga yabalabula n’abagamba nga bwe batagenda kukolera mu kifo ekyo kubanga bafuumuuliza abayizi obukuta obuva ku mbaawo.

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 703x422

Abasuubuzi nga batunuulira emmaali yabwe eyayidde.

 

BYA  ROSEMARY NAKALIRI

ABASUUBUZI abakolera mu Industrial Area e Bwaise bali maziga olw’omuliro ogutannategeerekeka gye gwavudde okukwata emmaali yaabwe n’esaanawo ku ssaawa 8:00 ogw’ekiro.

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda kyabwe nga bagamba nti ku Lwomukaaga yabalabula n’abagamba nga bwe batagenda kukolera mu kifo ekyo kubanga bafuumuuliza abayizi obukuta obuva ku mbaawo.

Bongeddeko nti Tekana yabaleeterako abafere abeeyita  abakozi ba KCCA ne babalagira okuyimiriza okukola okutuusa nga bagonjodde ensonga, kyokka bano baasalawo okwekubira enduulu ewa Town Clerk, Moses Sunday ku Lwomukaaga n’abategeeza  nga ye bw’atakimanyiiko era n’abalagira okuddamu okukola emirimu gyabwe.

Akulira abakozi ku kibanda kino yeesitudde n’agenda ku Biral okulaba omukulu w'essomero lino boogere naye tebaamusanzeewo wabula oluvannyuma lw'akaseera yazze kyokka olwatuuse yatandise na kuboogerera bisongovu n’okubalabula okumugendako empola kuba alina obulamu bw’abaana bangi obuli mu mikono gye tebamuwaliriza kukola kyajja kwejjusa obulamu bwe bwonna.

Bano basabye gavumenti okuvaayo ebayambe kuba beewola looni okutandikawo emirimu gyabwe kyokka nga babadde tebannasasula ssente kuzimalayo nga tebamanyi w ebagenda kutandikira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...