TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Weewale okukuba endobo mu mmotoka ya ‘automatic’

Weewale okukuba endobo mu mmotoka ya ‘automatic’

By Moses Lemisa

Added 17th June 2019

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Dsc8388 703x422

Makanika ng'alaga enkola y'emmotoka ya Automatic.

BYA MOSES LEMISA

ABAVUZI  b’ebidduka  okusinga  ebikola  bizinensi okuli bbaasi, loole, takisi  n’eza buyonjo  balina omuze gw’okukuba endobo  ku buserengeko  n’ekigendererwa ky’okukekkerezza amafuta.  John Kalemba  makanika omukugu mu galagi ya Bazira Diesel ku luguudo lw’e Salaama alaze obuzibu obuli mu kukuba endobo.

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula  D (Drive) ne R (Livansi )  kuba abantu abamu abavuga nga balina ebirowoozo asobola okukuba R n’ateeka mu D wano N w’eyambira. Mmotoka bw’eba mu D (drive) n’ogiteeka mu N (Neutral)  ng’eserengeta  ekendeezaako  amafuta matono g’enywa olw’okuba yingini eba tezikidde kale kyandibadde kirungi baddereeva ne batemanyiiza ndobo.

Okukuba endobo mu mmotoka za Manual tekirina buzibu kuba ddereeva y’aba agitegeera  okuggyako mu  Automatic  kya bulabe  kiyinza n’okuvaako okukola akabenje  singa oteeka mu N ne weerabira nti mwoli ng’ate oyagala kuyisa ogenda okujjukira okuteeka mu D (Drive)   mmotoka ekuli emabega eyinza okukukooona.

Singa mmotoka ebeera mu sipiidi  100 ng’eri mu ndobo  kitegeeza bw’oba ogenda kudda mu D (Drive)  oba olina okusooka okusiba n’ogitandikira mu ggiya 1,2,3  kino batono abakigoberera  kuba bw’ogiteeka mu D ng’ekyali ku misinde oba okanga yingini  n’okwonoona ggiya bokisi .

Ensonga endala lwaki tolina  kukozesa N oyinza okuba mu kalippagano k’ebidduka n’okuteeka mu N mmotoka bwe zisimbula oyinza okwerabira n’oteeka mu  Livansi (R) n’okoona  mmotoka ekuli emabega kyandibadde kirungi mmotoka n’ogiteeka mu P (parking). Mmotoka ng’eri mu N eba esiba kitono ng’era kino kivuddeko ba ddereeva bangi okukola obubenje

Okwemanyizza okukuba  endobo kinafuya ggiya bokisi eyandibadde ekola emyaka 6  n’ekola  3. Oyinza okuteeka mu N n’okuba endobo bw’otuuka okuteeka mu D (drive ) n’oteeka mu R (Revansi)  kino kireetera mmotoka  okumeketa ebyuma n’ekuba ggiya bokisi , Mmotoka  za Automatic empya si kirungi kukuba ndobo  w’okolera ensobi  eba egenda kucankalanya sisitiimu y’amasannyalaze.

Ensonga  endala ab’ebidduka gye balina okugoberera ye ggiya ya L ne 2 mu mmotoka za Automatic abamu tebamanyi mugaso.  Zino ziyamba mu kaseerezi  bw’oziteekamu mmotoka eggumira ku ttaka n’esobola  okutambula kasita eba nga tetudde , singa obeera mu sipiidi 100 ne weekanga ekkoona osobola okuteeka mu L oba 2  mmotoka n’efukamira (okusala sipiidi )

Singa oteekamu ggiya L oba 2 nga si kaseerezi mmotoka eba edduka emisindi mingi naye eba ekunywa amafuta kuba ezo ggiya z’amaanyi nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...