TOP

Afiiridde mu kkanisa

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2019

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba nti munnaabwe si mumenyi w’amateeka okumutwalira ku kabangali.

Afiiriddemukkanisa3 703x422

David Muzenze omusumba w'ekkanisa omwafiiridde omuntu ng'aliko by'annyonnyola kansala Rashidah Naluwooza.

Bya REGINAH NALUNGA

ABAGOBEREZI  mu kkanisa ya Jesus the Healer  e Kyebando mu munisipaali  y’e Kawempe baguddemu entiisa muweereza munnaabwe bw’afiiridde mu kkanisa.

Afudde ategeerekeseeko nga John Musoosi abadde akola ogw’obukebezi  nga y’akuuma n’ebyuma by’ekkanisa.

Enfa ya Musoosi  ekanze banne, kubanga bazadde b’omugenzi babadde baamulekera musumba okumulabirira.

Bwe balaabye ng’embeera eyonoonese ne bakubira Rashidah Naluwooza kkansala w’ekitundu kino okutwala munnaabwe mu ddwaaliro kyokka  yagenze okutuuka ng’afudde.

Ate poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba nti munnaabwe si mumenyi w’amateeka okumutwalira ku kabangali. Baagisinzizza amaanyi n’epondooka era omulambo ne bagutwalira mu ambyulensi y’ekitundu.

David Muzenze omusumba w’ekkanisa omwafiiridde omuntu, agambye nti Musoosi  abadde atawanyizibwa obulwadde bw’ensimbu naye nga bamusabira. Maama we akolera Iraq era nze mbadde mulabirira.

Poliisi  y’e Kyebando egguddewo fayiro SD:REF:24/15/06/2019 ku kufa kw’omugenzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 220x290

Gwe ayagala okulekulila omulimu,...

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi

Bugingo 220x290

Bugingo bamuyise ku poliisi ne...

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko...