TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

By Scovia Babirye

Added 17th June 2019

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Lab2 703x422

Suzan Muhwezi akulira ekibiina kino ng'annyonnyola

EKIBIINA ekigatta bannannyini  mawoteeri mu ggwanga ekya Uganda Hotel Owners Association (UHOA) kivuddeyo ku bigambibwa nti Gavumenti eyagala kusanyaawo ebiyiriro bya Murchasion Falls batekewo ebbibiro lya masannyalaze.

Bano abakungaanidde ku Woteeri Africana nga bakuliddwamu Ssentebe w'ekibiina Suzan Muhwezi  bategeezezza nti Gavumenti essaana ejjukira ebiyiriro bino kikwata kyakubiri mu Afrika yo okufuna abalambuzi so bwebivaawo Uganda ebeera efiirwa eky'obugagga ekyamaanyi.

Muhwezi yayongeddeko nti mu Uganda eby'obulambuzi bisaale nnyo mu kuyingiza omusolo so byebasanyaawo ebiyiriro bino babeera basala ku nyingiza ya ggwanga ate ng'omusolo gwetaaga okusobola okutuukiriza embalirira eyakasomebwa.


Ye omumyuka w'ekibiina kino ategeezezza nti baakoze okunoonyereza okulaga nti Uganda erina amasannyalaze agawera so tewali nsonga etekesaawo bbibiro lya masannyalaze ddala era ne bweba weeri Govumenti esaana erowooze ku bifo ebirala so si kukyankalanya butonde bw'ensi.

Ono agambye nti bagenda kulwana okufiirawo okulaba nti Murchasion Falls esigalawo ne bwekiba kyetaagisa kufuna buyambi mu mawanga malala Uganda g'ekolagana nago .''Twamaze dda okuwandiikira kampani etegeka okukola ebbibiro lya masannyalaze mu kifo awali Murchasion Falls kuba twawulidde nti eva South Afrika era ne twabawadde ensonga lwaki twagala  ebiyiriro bino bisigalawo''Byamukama bweyategeezezza.

Ate omu ku balina woteeri mu ggwanga Haruna Kalule Kibirige (BMK) era nga ye nnannyini Hotel Africana ategeezezza nti Gavumenti esolooza omusolo mungi ku mawoteeri kyokka ebiyiriro ebyo kyekimu ku bireeta abalambuzi abasula mu mawoteeri ne baleeta omusolo.

Gavumenti bwejjawo Murchasion Falls Uganda eba efiirwa obukadde 500 ate ng'embalirira yeyongedde kwambuka , Kalule bweyategeezezza.

FFe twagala Gavumenti ekkirize tutuule ku mmeeza emu tuteese tulabe eky'okukola okusinga okusanyaawo obutonde kuba tosobola kukola kintu bwekityo nga tosoose kwebuuza ku bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente