TOP

Teddy alaze ebyobugagga by’akoze ne Bugingo

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2019

Teddy alaze ebyobugagga by’akoze ne Bugingo

Fut2 703x422

TEDDY Naluswa Bugingo mukyala wa paasita Aloysius Bugingo atutte mu kkooti olukalala lw’ebintu ebiraga nti ye ne bba Bugingo bagagga bavundu. Ebintu bino kuliko ettaka mu bitundu 13 mu Wakiso, Ntebe ne Mukono lye baagula bonna era bye bakoze ne bba mu myaka egisoba mu 20 gye bamaze mu bufumbo.

Ku bino yagasseeko emmotoka nnya n’ebintu ebirala n’agamba nti bw’ogatta ebyobugagga bino biri mu buwumbi bwa nsimbi n’asaba kkooti y’e Kajjansi omusango eguveemu gudde mu kkooti enkulu e Kampala.

Teddy okutwala olukalala mu kkooti kiddiridde Bugingo okutwalayo omusango ng’asaba kkooti eno ey’e Kajjansi ebagattulule. Teddy yayongeddeko nti kkooti y’e Kajjansi terina buyinza buwulira musango gwa Bugingo kubanga gulimu ssente mpitirivu kkooti eri ku ddaala lya “Magistrate grade one” gw’etakkirizibwa kuwulira.

Mu musango Bugingo gwe yatwalayo nga May 9, 2019 mw’asabira okumugattulula ne Teddy agamba nti ebbanga lye babadde bombi bakoze ebyobugagga ebibalirwamu akawumbi ka ssente wabula teyagenda mu maaso kulambulula bya bugagga bino.

Wano Teddy we yamutegedde akalippo akasooka n’asaba kkooti eno egobe okusaba kwa Bugingo kubanga yakuteeka mu kkooti nkyamu ettakkirizibwa kuwulira musango gulimu ssente mpitirivu bweziti.

Teddy yagenze mu maaso n’alambulula ebyobugagga bye bakoze bombi ng’ebisinga lye ttaka. Block 392, plot 1397 e Sekiwunga mu Disitulikiti y’e Wakiso nga lyabugazi bwa hectares 0.1850, Block 383-391 Plot 5310 eriri mu Wakiso Disitulikiti, Block 92, plot 273 East Buganda- Kyagwe.

Ettaka eriri ku Block 383-391 plot 5309 mu KKB zone e Kitende mu Wakiso disitulikiti (amaka mwe baali babeera nga Bugingo tannagasuulawo), Block 383, plot 6904 mu Wakiso disitulikiti, Block 92, plot 865 eriri mu disitulikiti y’e Mukono Block 92, plot 266 (East land Mukono disitulikiti, Block 92, plot 864 mu Mukono disitulikiti, Block 92 plot 275 nga nalyo liri mu Mukono disitulikiti Block 92 plot 274 erisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono.

Block 169 plot 353 e Mukono Block 459, plot 325 e Nalumunye Mutundwe, Block 92, plot 863 nga liri mu Mukono, emmotoka nnamba UBA 481U ekika kya Harrier, mmotoka endala UBD 210N nga nayo Harrier, Premio UAV 001R , Prado TX Land Cruiser ng’eriko nnamba “Praiz God” ne yiika z’ettaka 20 e Nakadde mu Wakiso disitulikiti.

Muno mwe muli ne poloti Bugingo kw’azimbidde Suzan obwaguuga bw’ennyumba. Amawulire g’okutabuka kw’obufumbo bwa Bugingo owa House of Prayer ministries ne mukyalawe gaasajjuka mu May w’omwaka guno Bugingo n’atuuka n’okulayira nti kakibe kki tagenda kudda wa Teddy kubanga obufumbo tebukyasobola kudda ngulu kubanga tebukyalimu ssanyu na kwagala .

Mu mpaaba ya Bugingo, alumiriza Teddy okumutulugunyiza mu bufumbo omwali okumuvumira mu maaso g’abaana n’abantu mu kkanisa era nti yadduka mu maka gaabwe e Kitende olw’okutya nti agenda kumutuusako obulabe.

Wabula mu kwewozaako Teddy yawa ensonga 10 lwaki takkiriziganya na kyakwawukana na bba n’agamba era ensonga ezibatabudde ntono nnyo zisobola okugonjoolwa kuba ebyo mu bufumbo bibaamu.

Teddy alumiriza nti obuzibu bwonna bw’ava ku mukyala (gw’atayatula mannya) eyayingirira obufumbo bwabwe n’agamba nti singa Bugingo atereeze ensonga eno tewali kisobola kulemesa famire na mukwano gwabwe kuddawo kubanga akyamwagala nnyo era takkiriziganya nakya kkooti kubaawukanya.

Kuno yagattako nti ebbanga ly’emyaka egisoba mu 20 lye babadde bombi ne bazaaliramu n’abaana bana; Doreen Gift Bugingo, Winnie Treasure Bugingo, Jennifer Blessed Bugingo ne Isaac Miracle Bugingo bayise mu mbeera embi empitirivu n’ebizibu naye byonna baasobola okubivvuunuka nga kati n’embeera y’obufumbo bwabwe eriwo si ya maanyi nnyo eyinza okubalema okutereeza.

Teddy ne Bugingo baagattibwa nga December 20, 2003 ku Victory Church e Ndeeba. Looya Steven Ssali Ssenkeezi (tali mu musango guno) agamba nti mu misango gy’abaagalana abaagala okugattululwa, kkooti ento esobola okuguwulira singa kiba ng’omwami n’omukyala bombi Bafrika. Agamba nti amateeka gagamba nti omu ku bbo bw’aba si Mufrika omusango gulina kuwulirwa mu Kkooti Enkulu.

Ayongerako nti kkooti ento nga ey’e Kajjansi tekkirizibwa kuwulira misango girimu ssente zisukka bukadde 30 yadde nga ekkirizibwa okuwulira emisango gy’okusazaamu obufumbo era mu mbeera eno omusango osobola okugutwala mu Kkooti Enkulu kubanga obuyinza bwayo tebuliiko kkomo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...