TOP

Maama bamusse n’abaana be 3

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2019

Maama bamusse n’abaana be 3

Fam2 703x422

Aba famire nga bakaaba

OMUTEMU yasoose kukyalira amaka gano ku ssaawa 3:30 ez’ekiro n’abasaba bamuyambeko ‘bamuchajingireko’ essimu ye! Mu nnyumba mwabaddemu maama n’abaana be basatu era yasanze bategeka kulya kyaggulo beebake. Kigambibwa nti yabadde abategeezezza nti essimu ajja kugifuna ku makya ng’ejjudde bulungi kubanga emaze ebbanga ng’emutawaanya olw’okuvaavaako omuliro.

Ku ssaawa 7:00 ez’ekiro, omutemu yakomyewo ne kkufulu eyiye n’ekisumuluzo ssaako ejjambiya empya ttuku. Yasoose kumenya kkufulu gye yasanze ku luggi n’ayingira. Yabadde atandika okutemaatema abagenzi n’alaba embazzi ku mabbali olwo ejjambiya gye yabadde nayo n’agissa ku bbali n’atandika okubatemesa embazzi.

Ejjambiya empya y’emu ku bizibiti poliisi bye yasanze mu nnyumba okumpi n’emirambo ssaako embazzi evulubanye omusaayi wakati mu mirambo. Bino bye bimu ku poliisi byeyazudde nga yaakatuuka ku kyalo Buleega ekiri mu Muluka gw’e Namatovu mu ggombolola y’e Najja mu disitulikiti y’e Buikwe.

Eno y’eri amaka omwabadde entiisa eno mu kiro ekyakeesezza Mmande. Abattiddwa kuliko; maama Agnes Nakabugo n’abaana be; Agnes Nassolo 16 abadde asoma mu S2 mu Buwooya Trust Academy, Tresy Zalwango 11, abadde asoma P5 mu St. Joseph Makindu P/S.

Omulala eyattiddwa abadde ayitibwa Owen Wagaba 17, abadde asoma S3 mu Buwooya Trust Academy ng’ono abadde mwana wa muganda wa Nakabugo gwe basse nga yali yagenda wa mukulu wa nnyina gy’aba asomera Abagenzi bonna baasangiddwa n’embale enene ku mutwe ng’omulenzi alabika yagezezzaako okwerwanako ne bamutema emikono amaanyi ne gamuggwamu ne balyoka naye bamutema omutwe ne bagubajjulamu n’afa Omusaayi gwabadde gubunye ebisenge akabonero akalaga nti waabaddewo okwerwanako kyokka omutemu n’abasinza amaanyi.

 

Omutemu yabadde tayambadde ngatto kirabika okwewala okuwoggana ng’atambula. Kino kyeragidde ku bigere ebyabadde bibunye mu nnyumba wonna nga bireka obulambe bw’omusaayi gwe yabadde alinnyamu era obwedda yeetala ennyumba yonna okukweka buli bujulizi obuyinza okusuula abamulondoola mu buwufu bwe.

Mu bye yatutte mwabaddemu alubamu y’ebifaananyi, engoye n’ebirala. Essimu nayo yagitutte ne y’omulenzi w’awaka atasula mu nnyumba. Waliwo omwana w’awaka omulenzi Charles Kisekka asula mu muzigo gy’awaka eyakedde ku makya okugolokosa banne bagende ku ssomero.

Kisekka yagambye nti bw’agolokose ng’alaba banne tebannazuukuka kwe kugenda n’abakonkona nga tewali kanyego n’alaba kkufulu ku luggi ne yeebuuza gye balaze so nga balina kugenda ku ssomero kwekugenda ku ddirisa lya nnyina n’akonkona nga teri kanyego n’akyusa n’agenda ku ly’omu ddiiro ery’olubaawo n’alisika ne lyeggula okukuba amaaso munda ng’alaba mirambo kwe kukuba enduulu.

Abantu bakuhhaanye ne bakuba emiranga mu kiseera kitono nga poliisi etuuse wamu n’abakulembeze nga mw’otwalidde n’abeebyokwerinda okuva wonna mu disitulikiti we. Kisekka yategeezezza nti olwalabye ettemu lino omutima ne gumukubira ku muvubuka gwe yagambye nti yazze awaka ekiro ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ng’ayagala ‘kuchaginga’ ssimu ye. Omuvubuka ono mukuumi ku ssamba z’ebikajjo era ye yamulese mu nnyumba ennene ng’ali ne banne n’adda mu kayumba ke.

Kisekka yagambye nti naye eyabadde aleese essimu ye ‘okuchaaginga’ bwe yaginoonyezza nga tagiraba n’ajjukira omukuumi ono kwe kugenda okumunoonya. Wabula nti kimubuuseeko okusangayo wuuzi okuli ekisumuluzo ky’ekkuufulu eyasibye enju. Olwababuuzizza essimu ye ne bamutegeeza nti tebannagirabako.

Bino Poliisi bwe bitegedde egenze mukungujjo ku nju abavubuka mwebasula nga tebaliiwo n’emenya kufulu nga n’aba LC weebali bonna ne bayingira. Mu nju baasanzeemu omujoozi omu ku bo gwe yabadde ayambadde nga gwonna guvulubanye omusaayi.

Mu nju y’emu era baasanzeemu wuuzi okubadde ekisumuluzo kya kkufulu eyakozeseddwa okusibira emirambo mu nju era nga baasanzeemu ne alubaamu z’abawala omubadde ebifananyi byabwe nga zikwekeddwa mu kisenge.

Poliisi yakutte omuntu omu agiyambe mu kubuuliriza. Maama eyattiddwa yali yayawuka ne bba Tom Ndaula emyaka 10 n’asengukira e Luweero n’afuna omukazi omulala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...