TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti eremedde ku ky’okusiba abali ku gw'okutemula Kaweesi

Gavumenti eremedde ku ky’okusiba abali ku gw'okutemula Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2019

Gavumenti eremedde ku ky’okusiba abali ku gw'okutemula Kaweesi

Kip2 703x422

GAVUMENTI eremedde ku ky’okuyimbula abasibe omunaana abaasigala mu kkomera e Luzira ku musango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we Geoffrey Mambewa.

Abasibe bano okuli, Abdul Rashid Mbaziira, Aramazan Noordin Higenyi, Yusuf Mugerwa, Bruhan Balyejusa, Shafik Kasujja, Joshua Kyambadde, Jibril Kalyango ne Yusuf Siraje Nyanzi nga baasindikibwa mu kkooti Enkulu ku musango egyo kyokka oluvannyuma lw’okumala emyaka egisoba mu 2 baddukira mu kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Kololo ne basaba okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti.

Omuwaabi wa Gavumenti, Lino Anguzu yalemedde ku ky’okuyimbula abasibe bano bw’ategeezezza nti omulamuzi Lydia Mugambe eyabakiriza okweyimirirwa nti obukwakkulizo bwe yabateerawo balemeddwa okubutuukiriza era bwebatyo tebasaana kuva mu kkomera e Luzira gye bali ku limanda.

Anguzu agambye nti kkooti yabalagira okwekenneenya ebifo abantu gye baali babeera nga tebannakwatibwa okumanya oba bamanyiddwa kyokka bwe baakola okunoonyereza kwabwe baakizuula ng’abamu ku basibe bano bwe batamanyiddwa era nga tebalina bifo bya nkalakkalira gye bayinza kusangibwa singa kkooti ebeera etandise okuwulira omusango gwabwe.

Abamu ku be yanokoddeyo ye; Bruhan Balyejjusa, Shafik Kasujja, Joshua Kyambade, Jibril Kalyango ne Yusuf Siraje Nyanzi nga bano ategeezezza nti bwe beekenneenya obutuuze bwabwe gye baali babeera bassentebe b’ebitundu baabategeeza nti baali batuuze baabwe naye ne bavaayo era tebamanyi bwatyo n’agamba nti abasibe bano tebeetaaga kuyimbulwa kubanga obutuuze bwabwe butankanibwa.

Ate ye Abdul Rashid Mbaziira, Aramazan Noordin Higenyi ne Yusuf Mugerwa baakizudde nga bamanyiddwa mu bitundu gye baali babeera era nga baali bafumbo. Wabula Anthony Wameli, omu ku balooya b’abasibe bano agambye nti baali babeera mu bifo ebyo naye engeri gye baakwatibwa nga kati giweze emyaka 2 nga tebaliiyo ye nsonga lwaki bassentebe b’ebitundu gye baali babeera baabeegaanyi nga bagamba nti baava ku bitundu byabwe.

Ate ye Ladslus Rwakafuuzi; nga naye looya wa basibe bano agambye nti oludda oluwaabi terubade lwenkanya mu kusaba kw’abantu bano n’agamba nti bwe baali bakwatibwa ebitundu byabwe byalagibwa era bimanyiddwa wabula bo ekigendererwa kyabwe kya kubakuumira mu kkomera era n’abasibe be bakkiriza nti bamanyiddwa baabaggulako dda emisango emirala mu kkooti ez’enjawulo.

Ayongedde n’agamba nti bwe baawandikira ekitongole kya NIRA okumanya oba abasibe bano bamanyiddwa, yagaana okubadamu kyokka n’eddamu okusaba kw’oludda oluwaabi lwe baabawa nga kuliko amannya ge baali bongedde ku matuufu ag’abasibe era eno ye nsonga lwaki NIRA yabeegaana. Guddamu nga July 3, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.