TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja akwatiddwa ku by’okufera bafaaza b’e Gayaza

Omusajja akwatiddwa ku by’okufera bafaaza b’e Gayaza

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2019

Omusajja akwatiddwa ku by’okufera bafaaza b’e Gayaza

Jip2 703x422

OMUSAJJA akwatiddwa ku by’okufera bannaddiini ng’abaggyako ssente. Faaza Jude Makanga Bwanamukulu w’ekigo ky’e Gayaza mu Wakiso aludde ng’afuna okwemulugunya okuva mu bannaddiini okuli ababiikira ne bafaaza mu kigo ky’e Gayaza ku musajja abadde agenda gye basula n’abakaabira ebizibu ne bamuwa ssente, kyoka nga buli faaza amubuulira emboozi ya njawulo.

Omusajja ono eyeeyita Martin Kawooya omutuuze w’e Kyankima, Kasangati, yasooka kutuukirira Faaza Makanga n’amutegeeza nti alina obuzibu awaka m’omukyala nga yasooka mu LC1 naye bwe baatuukayo n’amwegaana nti tamumanyi kyokka nga mu bufumbo bamazeemu emyaka 25.

Kigambibwa nti yatuuka n’okukaabira mu ofi isi ye ng’agamba nti ensi emunyiye agenda kwetuga kubanga yazaala abaana bataano abana ne bafa kyokka omuwala eyasigalawo yeegatta ne nnyina era bamutulugunya nga talina waakulaga.

Faaza ayamuwa ssente ng’amutegeezezza nti agenda kusengukira Mitala Maria. Oluvannyuma yanyumizaako bannaddiini abalala mu kigo nabo ne bamutegeeza nti yabatuukirira ng’abanyumiza emboozi ezaagala okufaanana.

Ku Mmande Faaza yafunnye essimu okuva ku klezia ya Our Lady of Counsel Gayaza ng’ayagala kufera. Bwe yakwatiddwa kwe kubagamba nti obwavu bubadde bumutawaanya ng’anoonya ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...