TOP
  • Home
  • Amawulire
  • bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2019

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze

Tip2 703x422

AKULIRA ebyokwerinda mu Mini Triangle asimattuse okufa bwe baamulumbye mu maka ge mu matumbibudde. Meddi Kabuuma 23, akola fuleemu z’entebe omutuuze mu Mini Triangle zooni mu muluka gwa Makerere I e Kawempe kigambibwa nti mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano yalumbye amaka ga Umar Muwanga omu bakulira ebyokwerinda mu Kitundu ng’amulanga okuyoolanga abavubuka b’omu kibinja kye. Baamulumirizza okwagala okutta Muwanga.

Ono omusango gw’okutta agwegaanye ng’agamba yabadde agenze kumukangamu. “Afande amazima difensi atumazeeko emirembe buli kiseera atuwendulira obuserikale ne butuyoola kale eky’okulumba okuwolera si kyegaana naye nabadde sigenda kumutta obuzibu bwe nakoze kulumba maka ge ekiro.

Ky’alina okumanya nti e Luzira bansibiddeyo nnyo sirina kye ntyayo ate nja kuvaayo nzire ku kyalo ”Kabuuma bwe yeeweredde Muwanga. John Kalyowa yategeezezza nti Kabuuma okulumba amaka ga Muwanga yabadde amaliridde okumutta kuba yabadde n’ebissi era ekyayambye Muwanga teyabaddemu mu nju yabadde n’abaserikale nga balawuna ekitundu. Yagambye nti Kabuuma yasoose najja ku ssaawa 5:00 ez’ekiro n’abuuza abaana kitaabwe gyali ne bamuddamu nti tebamanyi gy’alaze naddayo .

Yagasseeko nti Muwanga yazzeeyo ku ssaawa 9:00 ez’ekiro abatuuze ne bamutaayiizza ne bayita poliisi n’emukwata. Umar Muwanga gwe baalumbye yagambye nti Kabuuma mwana nzaalwa ya mu kitundu ng’azze yeenyigira mu bumenyi bw’amateeka obw’enjawulo n’atwalibwa mu kkooti n’avunaanibwa wabula olukomawo n’atandikira we yakoma.

Kabuuma alina ekibinja ky’abavubuka abamenyi b’amateeka ng’abamu bava mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo ng’enjaga baginywa mu budde bwa makya, ssaawa 7:00 n’akawungeezi.

Yagasseeko nti ekiro basalako enguudo okuli olwa Binaisa, Bombo Road, Mawanda Road ne bakuba abantu ng’abamu bambala engoye ezisoba ssatu n’ekigendererwa ky’okukyusa nga bamaze okubba. Kabuuma yagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD REF:02/14/06/2019

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.