TOP

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2019

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Sab2 703x422

ENFA ya yinginiya w’amayumba eyasangiddwa ng’omulambo gwe gugahhalamye ku lubalaza ku mayumba kw’asula e Buddo etankanibwa ng’abamu bagamba nti ayinza okuba nga muganzi we gw’abadde yakafuna alina ky’agimanyiko abalala nti wabaddewo abamunoonya ku musango gw’okusobya ku bujje.

Richard Ssemakula omutuuze w’e Buddo ng’abadde mukwano gw’omugenzi Steven Katabaazi 40, yagambye nti ennaku nga satu emabega omugenzi yali yafunamu obutakkaanya ne muganzi we gw’abadde abeera naye era ne baawukana omukyala n’asigala ku nnyumba eya wansi ate bba n’alinnya n’atandika okusula ku mwaliiro ogutannaggwa. “Ekiro ekyakeesezza ku Mmande nanywedde ne Mutabaazi omwenge ekiro era nze nayawukanye naye ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro nga mulamu.

Ngenze okuwulira ku makya nti ate bamusse,” bwatyo Ssemakula bwe yategeezezza. Omulambo gwa Katabaazi gwasangiddwa nga gugahhalamye wansi wa kalina gy’abadde asulako eya Michael Lwanga era ng’omugenzi y’abadde agizimba.

Abamu ku bapangisa abataayagadde kubaatukiriza mannya baagambye nti baawulidde ekigwa ku makya ku ssaawa nga 11:00 wabula baasoose kulowooza nti oba kasawo ka ssementi wabula baagenze okuggulawo ku makya nga mukama waabwe abadde abasoloozaamu ssente ku lw’omugagga nannyini nnyumba gwe basse.

Omulambo gwa Mutabaazi poliisi y’e Nsangi yagututte mu ggwanika lya KCCA e Mulago okuzuula ekituufu ekyamusse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...