TOP

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2019

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 703x422

ENSONGA yeekuusa ku nnyonyoogeze. Era nga kino kye kimu ku bikulu ebireetera abasajja okumatira nga bali mu kaboozi. Banoonya nnyo ekibawa ennyonyoogeze okusobola okumatira. Kubanga buli lw’afuna kino aba ng’afunye amuweeweese; yenna ebinywa ne bita n’aweweera.

Jjukira oluusi okufuna akaboozi aba ayise mu kwereega ng’omukazi akyeremye. Naye bw’asanga ebbakuli enfunda, kiba nga ekimunaazizzaako ebizibu byonna by’ayiseemu.

Kuno kwe bagatta n’okwagala okufuna ebbugumu. Kale bino byonna babifuna ng’ebbakuli y’omukazi nfunda ng’ebamiima nga bali mu kigwo. Era bwe babisanga kye bayita obuwoomi.

Kati omukazi ky’ava alina okufi irawo okulaba nga akuuma ebbakuli ye nga nfunda. Kubanga gy’ekomye okuba enfunda, gyejja okukomya okumiima enkasi y’omwagalwa we, afune obuwoomi n’amaanyi ag’ekigwo bombi basobole okutuuka ku ntikko. Omusajja amatidde mu mbeera eno, azzaako ebintu bingi omuli n’okusumulula waleti.

Kati nno omukazi ky’ava alina okufi irawo okulaba nga akola kyonna ekisoboka nga okukyalira ensiko, n’okunaaba emiddo egifunza wamberi we agende okujjula oluwombo lwe nga lunyuvu. Naye bw’ateefaako, ebbakuli efuuka empompogoma. Nga kino kitegeeza nti omusajja tajja kufuna ebyo bye twogeddeko.

Abakazi bangi abawoza omusajja yajja lumu n’atadda, eno y’etera okuba ensonga emu ku ezo eyinza okuba nga yaleese embeteza. Ate omusajja bw’asanga ebbakuli engazi, ekimujjira mu bwongo kye ky’okuba nti oluwombo lw’omukazi ono balutaagudde nnyo emirundi mingi.

Ate nga teri ayagala kukomba kibya kye bakozezzaamu. Kale yebbika emmeeme ekiyinza okumuleetera n’okubulwa amaanyi g’ekisajja. Kale abakazi mwefeeko muleme kudiba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...