TOP

Bajjo asindikiddwa Luzira.

By Martin Ndijjo

Added 18th June 2019

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Bajjo13 703x422

Bajjo mu kkooti

Omutegesi w’ebivvulu era nga munnakisinde kya 'people power' Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events byongedde okumwonoonekera.

Asindikiddwa mu kkomera e  Luzira okutuusa Olwokubiri lwa wiiki ejja nga July 25, 2019.

Kino kidiridde omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Stella Amabiris okumusomera emisango ebiri okuli ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwogera ebigambo ebigendereddwamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga (offensive communication).

Okusinzira ku ludda oluwaabi kigambibwa Bajjo yakuma omuliro mu bantu mu bitundu bya Kampala, Masaka ne Mbarara ng’ayita mu katambi ke yateeka ku ‘social media’.

Wabula wabaddewo okusika omuguwa wakati wa munnamateeka we,  Loadi meeya Erias Lukwago n’omulamuzi amangu ddala nga Bajjo bamaze okumusomera omusango ogw’okubiri,

Lukwago bwagambye nti omuntu we ebimubuuziddwa abadde tabitegedde bulungi olw’ebigambo omutaputa abadde mu kkooti byakozesa okuvvunula omusango gwa ‘Offensive communication’ mu lulimu Oluganda ebitali bituufu era nti bibuzaabuziza Bajjo.

Wano asabye omulamuzi bafune omukugu mu lulimi Oluganda ataputire bulungi omuntu we ekigambo ‘Offensive communication’ atitegeere aleme kukirizza musango gwatategedde,

kyokka omulamuzi asoose kugaana ng'agamba Bajjo buli kimu abadde akitegeera bulungi kyokka oluvannyuma akirizza kkooti okuwuumulamu eddakika 10 bafune omutaputa amanyi obulungi Oluganda.

Akomyewo nategezza nga bwatasobodde kufuna mukugu mu Luganda okuvvunula ekigambo kino era bwatyo asindise Bajjo e Luzira okutuusa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga bafunye omutaputa omulala.

 ajjo lwe bamukwata ku womukaaga Bajjo lwe bamukwata ku Lwomukaaga

Ab’oluganda, abawagizi ne mikwano gya Bajjo wamu ne balooya be bakedde ku kkooti y’e Nakawa olw’amawulire ge basoose okufuna nga galaga nti eno gye bagenda okumutwala kyokka ku ssaawa 5:00 ez’okumakya ne babategezza nga bwatwalibwa ku kkooti ya Buganda Road era kkooti etude ku ssaawa 10:00 ez’olwegulo.  

Bajjo yakwatibwa ku Lwamukaaga lwa wiiki ewedde ab'ekitongole kya magye ekya 'Presidential Protection Guard' (PPG) bwe yabadde atuuzizza olukung’aana lwa bannamawulire ku Centenary Park ku bbaala ya Mix lounge ng’ali ne munne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex.

Eggulo (ku Mmande) yatwaliddwa ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku misango eminene ekya SIU e Kireka gye bamubuulizza kajogijogi w’ebibuuzo n’okukola sitatimenti ez’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cancerdrbalagadde2webuse 220x290

Abaana abafuna obulwadde bwa kookolo...

Abaana abalwala kookolo beeyongedde wadde nga ssinga bafunye mangu obujjanjabi bawona

Fuso1webuse 220x290

Omusuubuzi bamubbyeko mmotoka ng'agisimbye...

Omusuubuzi gwe babbyeeko mmotoka awanjagidde poliisi emuyambe kuba obulamu bwe kwe buyimiridde

Ababba amasannyalaze babatutte...

POLIISI yeezoobye n’abatuuze b’e Kawempe abagambibwa okubba amasannyalaze mwe baakwatidde n’omugagga w’oku Kaleerwe....

Mizannyo11webuse 220x290

Muddeemu okusomesa abayizi emizannyo...

Giigino emizannyo ginnansangwa egisomesa abaana okuyiiya, obukozi n'okukolera awamu

Omulabiriziwemukonojameswilliamssebaggalanabamukubasumbanabaweerezangabatuukakukkanisawebuse 220x290

Abakkiriza b’ekkanisa ya Uganda...

Abakristaayo mukulembeze okuteekateeka okukuza abaana kubanga y'ekkanisa ey'enkya basobole okutambuza obusumba...