TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Asangiddwa ng'abba ebyuma ebikola oluguudo aba LDU bamukubye amasasi

Asangiddwa ng'abba ebyuma ebikola oluguudo aba LDU bamukubye amasasi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th June 2019

Asangiddwa ng'abba ebyuma ebikola oluguudo aba LDU bamukubye amasasi

Mas1 703x422

ABASERIKALE aba LDU baliko omusajja gwebakubye amasasi n'atwalibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka era ne bakwata ne munne gw'abadde naye nga bano basangiddwa lubona nga babba ebyuma ebyatekebwa ku makubo ku luguudo lwa Entebe Express High way.

Akubiddwa amasasi ategerekeseeko elya Gonzaga Ssempijja 37 ne mune Innocent Turinawe 30 nga ye yewaddewo mu mikono gya poliisi n'atwalibwa ku poliisi ye Entebe nga bano okukubibwa amasasi kyaddiridde okubasanga ekiro ku ssaawa kkumi ez’okumakya  ku kyalo kye Lutaba mu Ggombolola ye Bukasa nga babba ebyuma ku kubo kyokka ababiri bano bwebalabye aba LDU nga bagya kwekudduka ne babayimiriza ne bagaana okuyimilira nga wano kwekutandika okubawekerezza amasasi okukkakkana nga gakutte Ssempijja wabula Turinawe bweyalaba nga munne bamukubye amasasi neyewaayo ne bamukwata era ne bamukwasa poliisi ye Entebe.

Omwogezi wa magye ag’okuttaka Col: Henry Obbo yagambye nti Gavument eteeka ssente nyingi mu nguudo naye ebyuma ebisinga bibbiddwa nga bakugenda mu maaso n’okukola ekikwekweto ku Bantu abanyaga ebyuma ku makubo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...