TOP

Abakolera ku Namirembe Road beekalakaasizza

By Hannington Nkalubo

Added 20th June 2019

ABAKOLERA ku luguudo lwa Namirembe olukolebwa batabuse ne baluggala okumala akaseera nga beemulugunya olwa KCCA okulukyusa ekivuddeko akalippagano ka mmotoka okweyongera ne kisannyalaza emirimu gyabwe.

Namiremberd 703x422

Kansala Kayigo Kikulwe (ku kkono) ng’akulembedde abavubuka okwekalakaasa.

Bya HANNINGTON NKALUBO NE JILL AINEBYOONA

ABAKOLERA ku luguudo lwa Namirembe olukolebwa batabuse ne baluggala okumala akaseera nga beemulugunya olwa KCCA okulukyusa ekivuddeko akalippagano ka mmotoka okweyongera ne kisannyalaza emirimu gyabwe.

Embeera okusajjuka kyavudde ku mukoka eyeegasseemu kazambi n’ettaka ebyawaguzza ne bikulukutira mu maduuka nga byasinze kukosa abatundira emabega wa KK Trust Hotel.

Owa LC ku Blue Room, Sadiq Nsubuga yagambye nti pulojekiti teyandibadde mbi naye KCCA egaanyi okusooka okubakolera obumu ku buguudo obusobola okuyamba ku kalippagano naddala akayita emabega wa KK Trust Hotel.

Bakansala abaakulembeddwa Kayigo Kikulwe, Faridah Nalumansi, Robinah Nankya baagambye nti dayirekita wa Kampala, Andrew Kitaka asaana agende alabe embeera embi mwe bakolera.

Ssentebe wa Muzaana, Saad Lukwago yagambye nti baali basuubira KCCA okuzimba oluguudo nga luyita waggulu olwo wansi abantu batambuze bigere kyokka balaba ate n’olubaddewo lufunziddwa.

Akulira Ppaaka ya Kisenyi Bus Terminal, Billy Tamukedde yalumbye KCCA nti pulojekiti eno esannyalazza ekitundu kyonna. Yagambye nti abagagga abamu KCCA baagikuba mu kkooti lwa kukkiriza bantu kuzimba mu kkubo era emisango gikyagenda mu maaso.

Wabula abamu ku basuubuzi n’abakulembeze mu kitundu bagamba nti oluguudo lubadde lutandise okulabisa obulungi ekifo era nga mmotoka zirumanyidde.

Ssentebe Swaleh Tibamwenda yanenyezza abeekalakaasizza nti bakoze bubi kubanga kiyinza ate okusannyalaza emirimu.

Ekibinja ky’abavubuka abaabadde n’emiggo n’amayinja wakati mu kwekalakaasa baalumbye abakozi ba kkampuni ya Sterling Civil Construction erukola ne babagoba.

Enguudo eziva ku lwa Namirembe ezaabadde ziggaddwa abavubuka baazigguddewo ne balabula nti ssinga ziddamu okuggalwa bagenda kuddamu batabuke era ensonga bazitwale ewa Pulezidenti Museveni.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yasabye abavubuka bakkakkane kubanga obulumi obuliwo bwa kaseera buseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...