TOP

Abazadde basse omwana waabwe ne bamwebakira

By Paddy Bukenya

Added 20th June 2019

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala we kwe babadde basula.

Ssande1 703x422

Ssande ne mukazi we.

Bya PADDY BUKENYA

ABAFUMBO basaddaase omwana waabwe ow’omwaka ogumu nga bagenderera okufuna obugagga.

Olwamusse omulambo ne bagukweka wansi w’omufaliso ku kitanda kyabwe, kyokka abatuuze baabaloopye poliisi n’ejja n’ebakwata.

Abazadde bano okutta omwana waabwe baamaze kugenda ku muganga eyabalagudde basaddaake omwana waabwe balyoke bafune obugagga bwe baabadde banoonya.

Ettemu lino lyakoleddwa Matia Ssande 38, ne mukyala we Tobinah Namaganda ab’oku kyalo Buwanguzi e Mpenja mu Gomba.

Abatuuze baategeezezza nti Ssande ne mukazi we baayingira mu kintu ekiringa ekidiinidiini ekitategeerekeka era ku kyalo babadde tebabuuza muntu yenna nga beeyita balokole era ng’awaka waabwe tewalinnya muntu nga ne nnyumba yaabwe buli kiseera ebadde nsibe.

Wabula baabadde bali awo, ne bawulira mu nnyumba ya Ssande nga mulimu amaloboozi agalinga agayimba ennyimba z’eddiini, kyokka bino okubaawo ng’abatuuze bamaze ennaku nga tebalaba mwana wa Ssande omuto abadde ayonka.

 batuuze nga bakoona amaka ga sande Abatuuze nga bakoona amaka ga Ssande.

 

Abatuuze baasazeewo ne balumba amaka ga Ssande okumubuuza abantu abali mu nnyumba n’omwana gwe batalaba gye yabadde alaze.

Ssande yasoose n’ababoggolera era n’abalagira okumuviira mu maka ge mu bwangu kyokka bo ne bamulemerako nga bamubuuza omwana waabwe gy’ali oluvannyuma lw’okwekengera ebyabadde bigenda mu maaso awaka.

Mu kiseera kino abaabadde mu nnyumba nga bakooloobya ennyimba baafubutuse ne badduka, olwo abatuuze ne bakalira mu Ssande.

Mukazi we yalabye bamulemeddeko, kwe kubategeeza nti omwana bba yamumugobya n’amutwala e Kawempe mu Kampala eri omusajja gwe yamuzaalamu.

Bino tebyamatizza batuuze abakkakkanya ku bafumbo bano ne batandika okubakuba era mu kavuvuhhano kano, poliisi waliyo eyagitemezzaako n’ejja neggyawo Ssande ne mukyala we.

Abatuuze baamenye ennyumba ne bayingira.

Olwatuuse munda ne batandika okuwulira ekivundu mu nju.

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala we kwe babadde basula.

Abatuuze baayise poliisi eyazze n’enona omulambo era bwe gwekebejjeddwa gwasangiddwaako ekiwundu ekinene mu bulago nga kiteeberezebwa nti omwana yasalibwa omusaayi ne gulembekebwa. Wabula muka Ssande yalemed deko n’ategeeza nti ye omwana we mulamu gy’ali e Kawempe era bwe kiba kyetaagisa mwetegefu okugendayo n’amunona.

Ssande ne mukyalwe, bagamba nti omulambo ogwaggyiddwa mu buliri bwabwe tebagumanyiiko, kirabika abatuuze be baaguleese ne bagubakasukira kubanga babadde babawalana olw’embeera ennungi gye balimu ku kyalo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu ky’e Katonga, Joseph Tulya yategeezezza nti abantu bano bye boogera birabika byakuwuddiisa poliisi era baatandise dda okunoonyereza ku ttemu lino.

N’agamba nti bwe kinaazuulwa nti abafumbo basse omwana waabwe baggulweko omusango

ogw’obutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...