TOP

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba bba

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2019

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba bba ng’agamba nti yanoba n’olubuto.

Kasangati13 703x422

Nassejje n'omwana gw'agambibwa okubba.

Bya WASSWA B. SSENTONGO  

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba bba ng’agamba nti yanoba n’olubuto. 

Aisha Nasejje 50 yakwatiddwa ne bba Abdul Tebaasoboke 59 nga bano baasangiddwa n’omwana Asrah Namubiru ow’emyezi omukaga nga yabbiddwa mu maka ga jjajja we Robinah Nalugwa ku kyalo Namayina e Kasangati. 

Nasejje yali akola bwa yaaya mu maka ga Nalugwa. 

 

Baamukwatidde mu disitulikiti y’e Kamuli mu ddya ne muggyawe. Bba Tebaasoboke yagambye nti Nasejje baayawukana omwaka mulamba emabega naamugamba nga bwali olubuto nga wayiseewo emyezi mukaaga era yamugambye nti azze kumutuuma manya ekintu kye yakoze nga tamanyi nti abbye omwana. 

Ye taata w’omwana gwe babbidde omwana, Fahad Mubiru yagambye nti yabadde aweddemu essuubi ly’okulaba ku muwalawe. 

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kasangati, Hamuza Majeme yagambye nti Nasejje yaguddwaako omusango ogw’okubba omana oguli ku fayiiro nnamba CRB/480/2019.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...