TOP

Wuuno omulamuzi ateeka ssente mu ttiimu y'Ekibe

By Moses Kigongo

Added 21st June 2019

OMULAMUZI wa Kkooti ensukkulumu, Esther Kisakye akulembedde ttiimu y’ekika ky'ekibe n'agituusa ku luzannya lwa ttiimu 16 mu mpaka z'ebika bya Baganda egiyindira mu kisaawe e Wankulukuku.

Kibemulamuzi02 703x422

Omulamuzi Kisakye (wakati) n'omukulu w'kika ky'ekibe (mu kkanzu) ne ttiimu yaabwe.

Bya MOSES KIGONGO

Kibe 3-0 Nkerebe

OMULAMUZI  wa Kkooti  ensukkulumu, Esther Kisakye akulembedde ttiimu y’ekika ky'ekibe n'agituusa ku luzannya lwa ttiimu 16 mu mpaka z'ebika bya Baganda egiyindira mu kisaawe e Wankulukuku.

Bino byabaddewo ku Lwokuna akawungeezi Kisakye bwe yeegasse ku mukulu w’ekika ky'e Kibe, Muyige Sulaiman Kinalwa ne bakulemberamu  ttiimu y'e Kibe eyawangude Enkerebwe ku ggoolo 3-0 ne yesogga oluzannya lwa ttiimu 16 mu mpaka zino.

Embeera eno yasanyusiza abawagizi ba ttiimu eno ne bawera okwongera okuwuttula ttiimu endala omuli Ente gye bagenda okuttunka nayo ku luzannya luno.

“Mu bulamu bwange nasigaza ebintu bisatu omuli; ekika kyange, ekkanisa n’omulimu gwange era bino byengenda okutandika okuwa obudde obusinga mukiseera kino,”,batyo Kisakye bwe yategeezezza ng’ayogerako eri abazannyi n’abawagizi ba ttiimu eno  ku kisaawe e Wankulukuku.

Embeera eno yaccamudde abawagizi n’abakungu b’ekika kino abakulembedwa Muyige Sulaiman Kinaalwa,Herbert  Mukasa (akulira ttiimu) ne Eddy  Sseremba nabo abaasazeewo okwongera abazannyi ssente nga bagamba nti baagala babakubire Ente ku luzannya oluddako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.