TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssekandi asabye ebibiina by'obwannakyewa okuyamba abayizi abanaku

Ssekandi asabye ebibiina by'obwannakyewa okuyamba abayizi abanaku

By Muwanga Kakooza

Added 23rd June 2019

Ssekandi asabye ebibiina by'obwannakyewa okuyamba abayizi abanaku

Jip1 703x422

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi asabye ebibiina by’obwanakyewa okuvaayo okuyamba ku gavumenti  mu kutumbula eby’ensoma y’abaana nga babawa ebyetaago by’okumasomero.

Bino yabyogeredde ku ssomero lya St. Lawrence Primary School erisangibwa e  Kitoofari, mu ggombolola y’e Kyanamukaaka e Masaka bwe yabadde ku mukolo gw’okukwasa abakulu b’amasomero 200 ebintu ebigenda okuyamba  abayizi mu  mu kusoma ebyabatoneddwa ebibiina by’obwanakyewa bibiri. 

Kuno kwabaddeko ekibiina kya li ‘’Block chain Charity Foundation’’ okuva e Malta ne ‘’Safe Future Uganda’’ era byalangiridde nti biguddewo  kampeyini y’okuwa abaana abasoma  mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu ebikozesebwa mu kusoma, paadi, ebyuma by’amasanyalaze g’enjuba  n’ebirala.

Kawefube ono atuumiddwa ‘’Binance for Children Special Impact Education Project – Uganda’’ wakukolebwa mu masomero 200 agaalondeddwa mu bitundu bya Masaka n’emirirwano, ebitundu by’amasekati ga Uganda wamu ne Busoga.  Akulira ekibiina kya ‘’Blockchain Charity Foundation Director, Athena Yu, yagambye nti abayizi ng’obukadde bubiri be bajja okuganyulwa mu nkola eno.

Kyokka nga ku bano abayizi akakadde kamu bagenda kuba bawala abagenda okuwebwa paadi kibatangire okuwandukanga mu masomero.  Ssekandi yagambye nti okuddukirira abayizi mu ngeri eno kigenda kuyamba abayizi okwongera okwekiririzaamu.

Era yebazizza minisita w’eggwanga ow’ensonga z’obwa Pulezidenti Esther Mbayo eyayamba okuyunga ebibiina by’obwanakyewa bano ku masomero. Era  n’asaba ebibiina by’obwanakyewa ebirala okuvaayo 

Omumyuka w’akulira abakozi ba gavumenti e Masaka Robert Mutungi  yebazizza obuyambi buno  n’agamba nti okusoomozebwa okuliwo kati kuli bya kuliisa baana n’okusuza abasomesa naddala mu byalo. 

Akulira ekibiina kya Director Blockchain Charity Foundation ,Athena Yu, yagambye nti okuyamba abavubuka kijja kuyamba okubakuumira  ku ssomero n’agamba nti okubagajjalira kisobola okuletera eggwanga ebizibu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Youcandresslikethisandstilllookcorporatenewwebuse 220x290

Engoye z'oyambala ku woofiisi ng'osobola...

Engeri gy'oyambala Hijaabu n'onyuma ku woofiisi ate n'osobola okusaala

Ensujjuwebuse 220x290

Abasajja muve ku biragalalagala...

Abanoonya amaanyi g'ekisajja mwettanire ebiro n'essunsa musigale nga muli balamu ate nga musaza kimu

Ababaka baweze okusimbira etteeka...

ABABAKA ba Palamenti abava mu Buganda bawadde Katikkiro Charles Peter Mayiga obweyamo nti ba kuyimirira n’abalimi...

Kkooti1 220x290

Ogw’ettemu ly’e Seguku gulindiridde...

OMUSANGO gwa Abdul Mukiibi agambibwa okutta Frank Katumba e Seguku ng’amutebereza okwagala mukazi we, Aisha Mubiru...

Kigandaweb 220x290

Omusumba Kiganda avuddeyo ku bya...

OMUSUMBA David Kiganda owa Christian Focus Centre anenyezza gavumenti okusirika obusirisi netebaako ky’ekola ku...