TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okubba ebigezo bya UNEB bavunaaniddwa

Abagambibwa okubba ebigezo bya UNEB bavunaaniddwa

By Joseph Mutebi

Added 23rd June 2019

Abagambibwa okubba ebigezo bya UNEB bavunaaniddwa

Neb2 703x422

Abavunaanibwa nga baleeteddwa ku kkooti ya Buganda Road

ABASOMESA ba siniya basatu okuva mu masomero ag’enjawulo basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’e ddaala erisooka mu kkooti ya Buganda Road ne bavunaanibwa emisango esatu nga gyonna gy'ekuusa ku kubba ebigezo n’okukopera abayizi ebigezo.

Abdu Rajab Matovu omusomesa  wa History ku ssomero  lya St Henry’s Namugongo era omutuuze  mu kabuga ky’e Kyaliwajjala Kimbejja zooni mu Wakiso,  Joseph Kaboggoza 30,  naye mussomesa  wa St Henry’s  Namugongo asomesa essomo ly’Oluganda  n’eriyigiriza okwetandiikirawo bizinensi  [Entrepreneurship] era omutuuze we Namugonga Jjanda e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ne Nixon Winjila 26, Munnakenya omutuuze w’e Kiganda  mu distulikiti y’e Kassanda beebasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Robert Makanza..

Okusinziira ku muwaabi wa gavumenti, Elizabeth Nandala, kigambibwa nti Rajab Matovu  ne banne abalala abatannakwatibwa wakati wa November 20,2018 ne December 4, 2018  nga bali mu disitulikiti y’e Kampala ne Wakiso nga bakozesa amasimu okuyita ku mukuttu gwa “WhatsApp” balagajjalira ebigezo bisatu ne babiwa Joseph Kabogoza okuli ekya “Entrepreneurship, Luganda ne Computer ekitakirizibwa mu mateeka.

Mu ngeri y’emu ne Nixon Winjila  avunaanibwa omusango ogwekuusa ku kubba ebigezo n’okukoppera abayizi ebigezo ekintu ekimenya amateeka.  Bonsatule emisango gino bagyeganye.

Omulamuzi yabadde akkirizza abawawaabirwa okweyimirirwa  ng’agamba nti balina eddembe wabula Nandala nakisambajja.

Yagambye nti newankubadde okunoonyereza ku misango gino kuky’agenda mu maaso, yasabye kkooti abawawaabirwa ebasindike ku alimanda kuba obudde bwebaleteddwamu mu kkooti okweyimirira abantu bwabadde bugenze n’asaba omulamuzi okusaba kwabwe kuwulirwe nga bakomezeddwawo olunnaku olulala.

Omulamuzi yakkiriziganyiza n’omuwaabi wa gavumenti nasindika abawaawabirwa bano e Luzira okutuusa nga July,05,2019 lwebanazzibwa awulire okusaba okweyimirirwa.

Yabawadde amagezi nti bwebabeera balina ababeyimirira baddembe okubategeza ne bagya ku lunaku olwo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Allegri2 220x290

Allegri ayagala kukola na Evra...

Allegri ayagala bamuwe ogw'okutendeka ManU era agamba ni waakukola ne Evra.

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...