TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'ebyokwerinda boogedde ku mbeera y'ebyokwerinda mu ggwanga

Ab'ebyokwerinda boogedde ku mbeera y'ebyokwerinda mu ggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd June 2019

Ab'ebyokwerinda boogedde ku mbeera y'ebyokwerinda mu ggwanga

Pop1 703x422

ETTEMU eryeyongera mu Kampala, n’ebitundu by’eggwanga ebirala, lyongedde okwewanisa Bannayuganda emitima naddala olw’okuba nti abagambibwa okutta abantu mulimu abeebyokwerinda ng’abajaasi ba UPDF n’abasirikale b’ebitongole ebirala.

Abantu baabulijjo abasoba mu 20 be baakattibwa mu bitundu bya Kampala n’emiriraano mu bbanga lya myezi ebiri gyokka! Obweraliikirivu obuli mu bantu kwe kutya nti ettemu likyeyongera kubanga emmundu nnyingi ez’ejjenjeero eziri mu mikono emikyamu ate ng’emisango egy’abantu abazze battibwa mingi tegirina we gituuka mu kunoonyerezebwako.

Abantu abattiddwa, abamu battiddwa misana ttuku ate abalala batemuddwa mu bifo ebiri kinnya na mpindi ne poliisi ne wabulawo awondera. Abeebyokwerinda omuli amagye ne poliisi basanga abatemu baamazeemu dda omusulo wadde ng’abamu babeera mu bitundu ettemu we likoleddwa.

Abantu poliisi b’ezze ekwata mu ttemu abasinga ba UPDF. Okugeza mu ttemu ly’ewa Zzana, kwabaddemu abajaasi ba UPDF babiri (Laba P.8). Aba aba UPDF abalala abaakwatiddwa nga bagenda kubba ku Fang Fang Hotel e Nakasero kwabaddeko; Cpl. Majid Abbas, Lc. Cpl. Ivan Asiimwe, Pte. Joshua Chandini ne ddereeva Ivan Opio.

ABANTU 20 BATTIDDWA MU MYEZI 2 Okuva mu April 2019, okutuuka kati, abantu abasoba mu 20, battiddwa abemmundu ng’abamu bajaasi ba UPDF kyokka bonna bwe bamala okutta abantu bagenda n’emmundu zaabwe, oluvannyuma poliisi n’ebaako abantu abagambibwa okwenyigira mu ttemu eryo b’ekwata wabula abamu bamala ne bayimbulwa ng’obujulizi bubuze.

Ettemu eryakasembayo libadde Mityana ku Lwokutaano abantu babiri bwe battiddwa abajaasi aba UPDF abaabadde bakuuma RDC (Laba P.5) l Mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, Yasin Galiwango, omuvuzi wa bodaboda e Kanyanya ku luguudo lw’e Gayaza, ababbi baamusindiridde ebyasi n’afiirawo bwe yabadde abagoba oluvannyuma lw’okulemesebwa okubba edduuka lya ‘Mobile Money’. l Mu kiro ku Mmande nga June 17, abantu bana ab’enju emu e Buikwe, battiddwa omutemu eyeekukumye mu nnyumba ne bamuggaliramu nga tebategedde.

l Agnes Nakabugo n’abaana be basatu; Agnes Nassolo, Tressy Zalwango ne Owen Wagaba, abatemu baabattidde mu nnyumba ekiro. Kigambibwa nti, eyabasse, yabadde yeesasuza olwa Nakabugo okumugaana okuganza muwala we.

 

l Harriet Nalwadda omusuubuzi wa ‘Mobile Money’ n’omukozi we Maureen Nakabuubi, abatemu baabalumbye bannyuka badda waka ekiro ku ssaawa nga 4:30 ne babakuba amasasi.

Ettemu lino lyabaddewo nga June 11 e Zzana ku luguudo lw’e Ntebe. Abazigu baataayizza emabega ne mu maaso Nalwadda ne Nakabuubi ne babulwa we baddukira olwo ne babasindirira ebyasi. Nalwadda we baamuttira, waaliwo poliisi mu mmita nga 200 kyokka tewaaliwo yataasa wadde ng’abazigu baatwala obudde obuwera mu kitundu. Baatutte ensawo ya ssente ze yadde annyuse nazo. Ono gwabadde mulundi gwakubiri ng’abemmundu bamwegezaamu.

Ogwasooka, baamulumba April 12, 2015 ne bamukuba amasasi ana mu lubuto ne mu magulu kyokka n’asimattuka. l Raphael Waugembe, abemmundu ababadde balondoola omusuubuzi wa ‘Mobile Money’ e Lungujja oluvannyuma beekanga omuyizi eyali afuluma ewaabwe okugenda okusuza mwannyina eyali omulwadde.

Ettemu lino, lyaliwo nga May 15 era Walugembe yali anaatera okutikkirwa ku yunivasite e Nkozi. We battira Walugembe, waliwo kabanga ka bigere okutuuka ku poliisi kyokka mpaawo muserikale yadduukirira.

l E Nansana emisana ttuku, abemmundu baggala oluguudo ne batta abantu basatu ku dduuka eritunda ebizimbisibwa erya Cheap Hardware nga May 29, 2019 oluvannyuma ne babba obutitimbe bwa ssente.

Ettemu lino lyakolebwa era poliisi y’omu kitundu teyanukudde. Abemmundu baali mukaaga nga bambadde ebikookolo ku maaso ne bayingira edduuka nga tewali kkamera yonna yasobola kubakwata. Mu ngeri ya kikomando, baakubye amasasi ne gakwata abantu okuli Immy Atukuru ne Frank Aruho ne bafiirawo ate omulala n’afiira mu ddwaaliro.

l April 28, abemmundu baalumbye City Supermarket e Mpereerwe ne babba ssente munda ne ku ‘Mobile Money’ eri wabweru ne batta n’omukuumi ne badduka nga tewali abayimirizza.

l Taban Atima, yattiddwa aba LDU nga May 22, e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono. Atima ne banne, aba LDU baabasanga mu ssanyu ne bagezaako okugoba omu ku bbo mu kukuba essasi, lyayita mu gwe baali bagoba, Jackson Azule n’omulala eyategeerekekako erya James ne limuyuza ekifuba ne likwata Atima n’akalirawo.

ETTEMU EDDALA l Wilber Majanja omusuubuzi w’ente n’embizzi, baamutugidde mu mmotoka omulambo ne bagukasuka ku kkubo ng’amaze okuttibwa e Ssanga ku luguudo lw’e Ssemuto.

Majanja yabadde agenda Ssemuto kusuubula nga May 30 abatemu ne bayimirira okumutwalako mu kabuga k’e Matugga we yali ayimiridde ng’alinda takisi. Ssente ze zonna baazitwala.

l Ronald Obangakene, omukuumi ku maka ga Haji. Kiwanuka e Muyenga, yatutte abeebyokwerinda mu kinnya kya kazambi nga April 22, n’abalaga omulambo gwa Dr. Catherine Agaba eyali akolera ku ddwaaliro lya IHK e Namuwongo. l Gorette Arot omutuuze w’e Namugongo, omulambo gwe gwasangiddwa okumpi n’enkambi y’e Nsambya ng’attiddwa nga April 14.

Poliisi yakutte abantu okuli; Hawumba Harriet, 19, Ssennabulya Wycliffe 23, Kalyango Watson Davis 22, ne Seremba John Julius 22 ne baggalirwa ku poliisi y’e Kabalagala.

ABAKULEMBEZE AWALI LDU KYE BAGAMBA Ssentebe w’akakiiko k’ebyokwerinda aka Palamenti, Ruth Doreen Amule (mukazi Amolatar) yagambye nti, baasazeewo ng’akakiiko k’ebyokwerinda mu Palamenti okulondoola ensonga eno basalire wamu amagezi n’ebitongole by’okwerindamu engeri y’okulwanyisa ettemu.

Yasabye abaduumizi ba LDU okukwatagana n’abakulembeze mu bitundu kuba wadde baabawadde obukugu mu byokwerinda naye tebayinza kusinga babeera mu kitundu kukimanya.

Meeya w’e Nansana, Regina Bakitte obuzibu buvudde ku malala aga LDU ge bazze nago kubanga omuntu gwe bawulire ye RDC yekka, abakulembeze abalala tebabafaako. Engeri abaserikale bano gye baaleetebwamu mu bitundu yennyini yalimu obukyamu kuba tewali mukulembeze mu kitundu yategeezebwa mannya g’abantu abaaleetebwa wadde obungi bwabwe.

Ekikolwa ky’okubeera ng’ebyalo birimu abantu abalina emmundu abatamanyiddwa agamba nti kiyinza okuviirako abamu okuzikozesa obubi abantu ne badda mu ddukadduka. Felix Ssemujju Mwanje, ssentebe w’eggombolola ye Wakiso-Mumyuka agamba nti emirimu gya LDU teginnaba kumutiza kuba ng’omukulembeze bamuleka bweru mu bikolebwa.

Yagambye nti mu tteeka erifuga Gavumenti ezeebitundu y’ateekeddwa okukulira akakiiko k’ebyokwerinda mu ggombolola kyokka kino kikoma mu bigambo. Okuggyako ekiseera Maj. David Matovu we yabeerera RDC yabatuuzanga ne basala amagezi agatebenkeza ekitundu. Kyokka okuva lwe yakyusibwa abasigadde tebamuwuliriza. Abaserikale ba LDU bwe baali bagenda okutendekebwa basuubizza nti bajja kukomawo bakolere mu bifo gye byaggyibwa.

Kyokka kyabeewuunyisa okulaba abaasindikibwa ku byalo nga tebabategeera. Yakkirizza nti aba LDU abalaba nga batambula ekiro, kyokka okusinga batambulira ku nguudo ennene ababbi ne basigala nga beegiriisa mu mu byalo. Yasabye wabeerewo enkolagana wakati w’abakulembeze ba LCku byalo n’aba LDU basobole okusalira awamu amagezi kuba be basinga okumanya abantu abakyamu mu bitunddu.

ABAKULIRA ABA LDU BOOGEDDE Maj. Bilal Katamba omwogezi w’ekibinja ekisooka ekya UPDF nga kye kivunaanyizibwa ku baserikale ba LDU yagambye nti ssi kituufu abantu kye beemulugunya nti, abaserikale abaabaweerezebwa ssi be bajja ku byalo.

Kye baakola buli muserikale baamuweereza mu disitulikiti gye baamuggya, kyokka nga tebamuzza ku kyalo kyennyini kwe yali abeera kuba kino kirimu obuzibu. Ekyokubiri ekyalo baakiggyangako abaserikale omu oba babiri ate ng’abaserikale bagabibwa mu bibinja ng’ekisingayo obutono kya baserikale 12.

Abaduumizi ba LDU baalagirwa okukolagana obulungi n’abakulembeze b’ebitundu kuba be bamanyi obumenyi bw’amateeka obuli mu kitundu. Yasuubizza okutereeza we kibadde tekikolebwa. Omulimu gwa LDU omukulu gwa kuyamba ku poliisi kuba ennamba yaabwe ntono era y’ensonga lwaki buli mumenyi w’amateeka akwatibwa bamutwala ku poliisi n’etandika okunoonyereza.

Ku kigambibwa nti abaserikale batambulira ku nguudo ennene zokka, yakiwakanyizza n’agamba nti olw’okuba omu w’abeera abalabidde mu kiseera ekyo alowooza nti awalala tebatuukayo. Kyokka olw’okuba basula balawuna, bamala ne batuuka mu buli kanyomero. Kyokka omuwendo gw’aba LDU gukyali mutono ogutabasobozesa kubeera buli wantu we babeera babeetaagidde.

Okutwaliza awamu abaserikale ba LDU babadde bawanguzi kuba basobodde okukwata emmundu, okukwata ababbi n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obw’enjawulo. Ku ky’okubeera ng’abatemu baasobola okulumba Cheap Hardware e Nansana emisana ttuku tekitegeeza nti, balemeddwa, wabula kiraga nti abatemu bakyusizza obuufu nga kati bazinduukiriza misana kuba ebikwekweto babikola budde bwa kiro. Ng’ebitongole byokwerinda yasuubizza nti bagenda kwongera okwetereeza balabe engeri y’okunyweza ebyokwerinda mu budde bw’emisana.

Katamba yakubirizza abantu baabulijjo okukolagana n’abaduumizi ba LDU be baateeka mu byalo basobole okuwuliziganya obulungi. Abakulembeze ba LC bakwatagane n’aba LDU. Yagumizza Bannayuganda baleme kutya nti embeera ebavudde mu ngalo kuba balina obusobozi bwonna okumalawo obuzibu obw’amaanyi.

POLIISI KYEGAMBA Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano agamba nti, tebannaba kulemererwa kukuuma Bannayuganda kuba abantu batambula obudde bwonna okukeesa obudde. Ayongerako nti, kkamera eziriwo tekigaana bantu kuzza misango kuba tezikwata, kyokka ziyamba okufuna obujulizi ne basobola okusitukiramu amangu.

Okuva lwe zaateekebwa ku nguudo zikoze kinene. LDU weebali naye tebasobola kubeera mu buli kifo era abakyamu basobola okubalabiriza ne bamenya amateeka. Ekisinga obukulu ye buli muntu okufaayo ku byokwerinda bye ng'omuntu naddala gy’akolera ne gy’asula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...

Sseka 220x290

Abaatemyetemye ssemaka ne banyaga...

Baamutemyetemye ebiso ne bamusaba ssente zaalina kwe kuzibawa ne mukazi we ne bamuyisaamu ensambaggere olwo ne...