TOP

Ebivuddeko ettemu okweyongera

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd June 2019

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Hat1 703x422

Omukazi Mbabazi Umuhoza y’omu ku balwanya ebitongole ebikuumaddembe.

Okunoonyereza kwa Bukedde kulaga nti waliwo okugugulana okw’ekimpoowooze wakati wa poliisi n’amagye ku nsonga ez’aba LDU nga kino kiva ku ngeri aba poliisi gye balowooza nti, aba LDU baaleeteddwa okuga eggwanga nti poliisi eremeddwa. “ Ffe batukyayisizza mu bantu nti, emirimu gyatulema, kakati katubawe obudde nabo bakole”, Owa poliisi eyasabye amannya ge okusikirirwa bwe yategeezezza Bukedde.

Embeera eno yeeyolekera ne mu ngeri misoni ez’okukwata abatemu n’ababbi ezibaddewo ng’enfunda eziwerako amagye galeka poliisi ebbali ne galumba gokka ate ne poliisi nayo bw’ebeera ne misoni yaayo, nayo ekola yokka.

Ng’oggyeeko poliisi n’aba LDU obutakwatagana, waliwo n’entalo mu bitongole ebyokwerinda omuli; ISO, CMI ne poliisi nga ku nfunda eziwerako wabaddewo obukubagana empawo mu lujjudde ku nsonga ez’ebyokwerinda.

Kyokka bbo abeebyokwerinda bagamba nti, bakolagana bulungi ne bannaabwe kyokka obutakwatagana bwabwe, bweyongedde okweyoleka bwe baalumbye omukazi eyali muganzi wa Andrew Felix Kaweesi, Christine Umuhoza Mbabazi ku ddwaliro lya Agali Medical Center e Lungujja ne bakuba omukuumi we amasasi.

Kigambibwa nti, waabaddewo obunkenke obwamaanyi wakati wa poliisi n’aba LDU ng’abaserikale ba poliisi y’e Nteete baagala okukwata aba LDU abaakubye Albert Hakiri omujaasi w’eggye erikuuma pulezidenti essasi kyokka abatwala aba LDU ne babalemesa. Aba LDU abali mu bitundu, abantu beemulugunya nti, tebamanyi bitundu byabwe.

Abantu be baawandiika okuva ku byalo, ssi be baabawa okubakuuma. Enkolagana wakati w’abakulembeze ku bitundu n’ababakuuma ntono ate awamu teriiwo.

Bwe batta Atima, ekikwekweto kye baaliko, ssentebe w’ekyalo James Mulindwa agamba tebaamutegeezaako nga bagenda mu kitundu kye. Ensonda mu polisi zigamba nti, aba LDU bakola bokka tebakolagana na poliisi eyandibadde ebayamba okubalaga ebifo eby’obulabe, abantu ab’omutawaana n’okubalambika engeri gye basobola okukolamu emirmu.

Abatuuze b’e Kasawo balumiriza nti, Atima atuuke okuttibwa, aba LDU ekikwekweto baakirimu bokka tekwaliko muserikale wa poliisi yenna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.

Buku1 220x290

Magogo azzeeyo ku butaka gy'azaalibwa...

FIFA olwamaze okumukaliga emyezi ebiri nga teyeenyigira mu mupiira, Moses Magogo, abadde pulezindeti wa FUFA, yasibidde...

Goat46 220x290

Abantu basalawo batya okwambulira...

NAYE nga ddala lwaki Bannayuganda balemwa okwambalira emikolo gy’abantu ne basalawo okwambalira embuzi obubuzi...

Kol0 220x290

Katikkiro akubirizza Bannamawokota...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza ensangi zino byetaaga okutumbula ebitone by'abaana, okubateekamu...