TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd June 2019

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Gr2 703x422

Grace Akulira akulira ba Mbega ng'atuuseeko webattidde owa Mobile Money

ABAJAASI ba UPDF babiri abagambibwa okutta owa Mobile Money n’omukozi we ewa Zzana batwaliddwa mu kifo we baabatemulira abantu ab’omu kitundu ne bakung’aana nga baagala okubaggya ku b’ebyokwerinda babeekolereko.

Bob Roberts Ochan ne Denis Magusho bombi nga beewaggula mu magye ga UPDF baatwaliddwa n’abantu abalala babiri okuli Jackson Mulunda amannyindwa nga Ssaalango ne Isaac Ntale owa bodaboda ku siteegi y’e Ndejje.

Baatwaliddwa ekitongole ky’ebyokwerinda ekirwanyisa obutujju ekya Joint Anti-Terrorist Task Force, JATT mu kifo awaatemulirwa Harriet Nalwadda n’omukozi we Moreen Nakabuubi.

Nalwadda ne Nakabuubi, abatemu baabalumba nga bannyuka okudda awaka ku ssaawa nga 4:30 ez’ekiro ne babakuba amasasi. Ettemu lino lyabaddewo nga June 11 e Zzana ku luguudo lw’e Ntebe. Pulezidenti Museveni yatuuseeko mu kifo kino n’akakasa abatuuze nti abeenyigidde mu ttemu baakwatiddwa era bagenda kukolwako ng’amateeka bwe galagira.

Aba JATTA mu byokwerinda eby’amaanyi baakunguzza abasajja abana abagambibwa okutta Nalwadda ne Nakabuubi be baatutte ewa Zzana ku Lwokutaano mu kaweefube ow’okuboogeza engeri gye baaluka olukwe n’engeri gye baatemula Nalwadda ne Nakabuubi.

Abatuuze b’e Zzana baggadde amaduuka ne bakung’aana nga bakambwe era aba JATT baasanze akaseera akazibu ng’abantu bataamye baagala okubaggyako abasajja abana babeekolereko. Obukuumi bwabadde bwamaanyi ng’aba LDU n’amagye balawuna buli wamu okulaba nga tewali muntu akola ffujjo.

Mulunda amannyiddwa nga Ssaalongo nga mutuuze w’e Sseguku ku mukaaga yaggyiddwa mu mmotoka ng’asibiddwa ekigoye mu feesi ng’asigazzaawo maaso gokka n’alaga poliisi engeri gye yabegamu Nalwadda okutuukira ddala ku lunaku lwe yattibwa. Magusho ye yazzeeko okufulumizibwa naye n’alaga poliisi engeri gye yattamu Nalwadda bwe yali agaanidde ensawo n’asalawo amukube amasasi agaamutta.

Mbega wa poliisi yabuuzizza Mugusho nti lwaki yakuba Nalwadda amasasi ate nga yali amuwadde ensawo n’ategeeza nti yali abamanyi kwe kusalawo bamukube wabulewo abalonkoma. Omulala gwe baggyeyo ye muvuzi wa bodaboda, Isaac Ntale ng’ono yeeyita Musiraamu nga mutuuze w’e Ndejje mu Ggombolola y’e Makindye Ssaabagabo. Yalaze we baali basimbye bodaboda kwe baatambulira ng’olwamala okukola misoni ne balinnya bodaboda ne badduka.

Bob Robert Ochan yasigadde mu mmotoka ng’agamba nti teyaliiko ku batta Nalwadda wabula yalaze poliisi engeri gye battamu omuyizi w’e Kyambogo e Lungujja, Lafayiro Walugembe bwe baamukuba amasasi ne bamutta.

Ekikwekweto kino kyabadde kikulembeddwamu akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu ggwanga, Grace Akullo. Abatemu baasoose kulaga ebifo mwe battira abantu abalala nga kuno kuliko Lungujja, Masanafu, Nyanama, Zzana ne Kajjansi era oluvannyuma bazziddwaayo e Kireka gye bakuumirwa mu kiseera kino.

Abatuuze b’e Zzana baakukkulumidde poliisi okuleeta abatemu 8 Bukedde SHAMIM NABUNNYA mu Ssande June 23, 2019 AMAWULIRE nga bababisse obuwero ku maaso era baagezezzaako okusiba oluguudo lw’e Ntebe okwekalakaasa kyokka poliisi n’ebakkakkanya.

Abatemu baalumba Harriet Nalwadda nga March 21, 2015 ne bamukuba amasasi mu lubuto kyokka n’asimattuka ate nga yali lubuto lwa mwezi ebiri era omwana waali. Omusango gwa Harriet Nalwadda gubadde mu kkooti ya Buganda Road nga gwasooka kubeera ku fayiro nnamba SD REF 16/21/03/2015 ne gukyusibwa ne guzzibwa ku CRB 559/2015 nga ku fayiro enkadde kwaliko Abud Kasule ,Wilfred Mugani, Bosco Akidiri, John Kibuuka, Isaac Ntale Kyelunyingo, kyokka abamu ku bano baateebwa nga kkooti agamba nti tewali bujulizi bumala.

Ssentebe w’e Zzana Kirimanyaga, Micheal Kayondo bwe yalabye bafulumizza Isaac Ntale eyali avuga bodaboda yategeezezza ntiy’oyo kennyini kuba yabuuza abatemu kiki kye bakola mu nzikiza ate ng’ekifo kya bulabe. Kayondo agamba nti yali tannatuuka waka n’awulira amasasi nga gavuga era ekyaddirira kumubikira Nalwadda ne Nakabuubi nti bakubiddwa amasasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...