TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

By Musasi wa Bukedde

Added 24th June 2019

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Lan1 703x422

Mbogo High School ne Hana International mu bawala wamu ne Kibuli SSS ne Kakungulu Memorial mu balenzi gayiseemu okuzannya mu mpaka za Badminton eza Africa e Zambia. 

Kino kiddiridde Mbogo ne Kibuli okweddiza ebikopo mu mpaka z’amasomero ate Hana ne Kakungulu ne gakwata ekyokubiri mu mpaka ezimaze ennaku ssatu e Lugogo mu Indoor Arena. 

CEO wa Uganda Badminton Association (UBA), Simon Mugabi ategeezezza nti gonna galina omukisa wabula nga gakusooka kwetaba mu za East Africa e Tanzania mu August naddeko eza Africa e Zambia. 

Mbogo yakyeddizza bwe yakubye Hana ku bogoba 3-1 ate kibuli n’ekuba Kakungulu 3-2.   “Bazannya Badminton nga tetulinda mpaka. Twagala kudda mu za East Africa omulundi ogwokuna, eza Africa omulundi ogwokubiri”, omutendesi wa Mbogo High, William Kabindi bw’ategeezeza. 

Mu balenzi, Kibuli SSS ekubye Kakungulu Memorial ku bugoba 3-2 omutendesi Jopshua Muguluma n’agamba nti bagenda kunoonya nsimbi ezibatwala mu mpaka za East Africa Schools.  “Omwaka oguwedde twawangudde empaka naye ne tutagenda mu za East Africa e Rwanda lwa bbula lya nsimbi”, Muguluma bwe yategeezezza. 

Abayizi 500 okuva mu masomero 40 be beetabye mu mpaka z’amasomero mu Badminton omwaka guno nga baavuganyizza mu myaka 10, 13, 15, ne 19 abawala n’abalenzi mu ttiimu ne ssekinnoomu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 220x290

Gwe ayagala okulekulila omulimu,...

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi