TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni asisinkanye abakungu ba China okutema empanda z'enkulaakulana

Museveni asisinkanye abakungu ba China okutema empanda z'enkulaakulana

By Benjamin Ssebaggala

Added 25th June 2019

Museveni asisinkanye abakungu ba China okutema empanda z'enkulaakulana

Sev1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ali mu kafubo n'abakulembeze ba China wamu n'abakungu betatambudde nabo okuva mu Uganda

OLWALEERO pulezidenti Museveni alumazeeko ng’asisinkana Baminisita ba China n’abakungu abakola ku nsonga ez’enjawulo okuteesa ku kuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka n’amafuta.

Asoose kusisinkana minisita wa China ow’ensonga ez’ebweru Wang Yi, ne bateesa ku ngeri China gy’egenda okuwagira Uganda okuzimba Standard Gauge Railway SGR.

Wang agambye nti China neetegefu okuwagira banywanyi baayo mu Africa ng’ekulembeza Uganda ku buli mutendera gwa nkulaakulana.

Museveni mu nsisinkano eno awerekeddwako Baminisita  ow’ensonga z’ebweru Sam Kuteesa, ow’enguudo Monica Azuba Ntege, omubaka wa Uganda  e China Dr. Crispus Kiyonga n’omubaka wa China mu Uganda  Zhang Zhuqiang.

Olumalirizza olukiiko olusoose ate pulezidenti ne yeesogga olukiiko olulala ne Hua Yan akulira kkampuni esima amafuta eya CNOOC.  Ensisinkano egendereddwamu okwongera okugaziya n’okunyweza enkolagana wakati wa Uganda China ku nsonga z’amafuta ne Gas.

Museveni agambye nti okusalawo eky’enkomeredde ku nsonga z’amafuta, buli ludda lusaana okusooka okwetegereza ennyo bye lusalawo.

Pulezidenti Museveni ali China ku bugenyi bwa nnaku nnya nga yayitibwa mukulu munne pulezidenti wa China Xi Jinping, agenze asisinkana abakungu ab’enjawulo ng’anoonyeza Uganda abavujjirizi b’enkulaakulana.

Akulira CNOOC Hua yatenderezza Uganda olw’okuteekawo obutebenkevu n’embeera esobozesa ba yinyesita okwegazaanyiza mu Uganda. Ensisinkano eno nayo yeetabiddwa minisita Kuteesa ne Ssabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...