TOP

Aba paaka y'e Mpereerwe balonze akakiiko akapya

By Moses Lemisa

Added 26th June 2019

ABAKULEMBEZE ba paaka y’e Mpereerwe balemereddwa okulaga ensaasanya ya ssente za baddereeva ekiwalirizza RDC w’e Kawempe, Deborah Nabukenya okubayimiriza ne balonda olukiikoo lw’ekiseera.

Bya MOSES LEMISA

ABAKULEMBEZE ba paaka y’e Mpereerwe balemereddwa okulaga ensaasanya ya ssente za baddereeva ekiwalirizza RDC w’e Kawempe, Deborah Nabukenya  okubayimiriza ne balonda olukiikoo lw’ekiseera. 

Aba takisi nga bakulemberwa Sadiki Ssemayobe n’olukiiko lwe baludde nga babalumiriza okubulankanya ssente n’okubaleteeranga bakifeesi ne babakuba.

Kyawalirizza  abawakanya okutandikawo paaka  endala ng’eno eriraanaganye n’enkadde nga mmotoka zigenda mu bitundu by’ebimu okuli Buwambo, Kiteezi, Nammere n’ebirala. 

Ku Lwokubiri Nabukenya yasisinkanye baddereeva ne bakondakita ku ofiisi ye  ne bamunnyonnyola ensonga zaabwe.

Baategeezezza nti baakoma okufuna ssente mu 2017. Baagasseeko nti ne bwe bafuna obuzibu tebayambibwa nga n’ettaka eryagulwa e Luweero polot zaawebwako balondemu naddala abaali bawakanya Ssemayobe n’olukiiko n’ekigendererwa ky’okubasirisa. 

Abaafuna poloti  baategeezezza nti baaweebwa fuuti 23-50 ne baweebwa endagaano ng’ekyapa kiri mu mikono gya Ssemayobe ekitegeezza nti ye nnanyini ttaka. 

Baategeezezza nti baagala kwegatta  bafune olukiiko lumu olutwala paaka zombi. 

Baalaze n’obupapula bwe bazze balopeerako emisango ku poliisi y’e Kanyanya nga bakubiddwa ba kifeesi abaleetebwa Ssemayobe.

Nabukenya  yalagidde   Ssemayobe n’olukiiko lwe okulaga ensaasanya ya ssente  nga baabadde n’ekipapula okwabadde emiwendo gya ssente ze bazze basaasanya ku bintu ebyenjawulo nga tebalina lisiiti ekyawalirizza Nabukenya okubayimiriza ne balonda olukiiko olw’ekiseera okuli ssentebe Isaac Kiwanuka, omuwandiisi Richard Ssemakula, omukanika Kawooya nga bano bakubeerako okumala omwezi gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...