POLIISI ekutte omusajja abadde agezaako okukukusa enjaga okugiyisa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe agitwale mu Buyindi.
Huzaifa Ssemwogerere 30, ow’e Ggangu ku luguudo lw’e Busaabala ye yakwatiddwa abaserikale ku kisaawe e Ntebe oluvannyuma lw’okuzuula nti yabadde alina ebintu by’akukulidde mu sanduuke omwabadde engoye ng’afuluma eggwanga agende e Buyindi mu kibuga ekikulu New Delhi.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Ssemwogerere yagenze ku kisaawe ng’akutte sanduuke ye wabula abaserikale ne bagyekengera ne basalawo bagiteeke mu kyuma ekyekebejja emigugu ne bazuula nga mwabaddemu ebintu ebitategeerekeka.
Owoyesigyire yagambye nti abasirikale baakutte Ssemwogerere ne bamutwala n’essanduuke ye okugyekebejja ne bazuula nga yabadde akweseemu enjaga y’obuwunga ezitowa kkiro ssatu nga yabadde agitadde wansi wa sanduuke n’asibawo ne ggaamu oluvannyuma n’ateekamu engoye.
Yategeezezza nti okuva mu January 2019 okutuusa mu June poliisi esobodde okukwata abantu 9 nga bagezaako okukukusa enjaga era nga balina fayiro 6 poliisi z’emaze okunoonyereza ng’abakwatibwa balinze kwewozaako mu kkooti.
Wabula Ssemwogerere yagambye nti ssanduuke yamuweereddwa omukazi gw’amanyiiko erya Aisha gwe yasisinkana e Dubai bwe yali ku kyeeyo nga yamusabye agimutwalireko nga tamanyi nti yabadde akweseemu enjaga.
Ssemwogerere yagguddwako omusango gw’okukukusa enjaga oguli ku fayiro SD 17/23/06/2019 ng’akuumirwa ku poliisi y’oku kisaawe e Ntebe.